Amawulire

Maama eyazadde 4 asobeddwa mu Ddwaliro

Maama eyazadde 4 asobeddwa mu Ddwaliro

Maama w’abaana asobeddwa eka ne mu kibira oluvannyuma lw’okugenda mu ddwaliro okuzaala ne bamulongoosaamu abaana bana wabula ng’ensimbi zimwekubya mpi. Rebecca Mbabazi 31 mu kiseera kino amaziga gatandise okumuyunguka ng’eky’okukolera abaana abana be yazadde takiraba sso ng’ate embeera gye balimu si nnungi nga n’ensimbi ez’okusasula eddwaliro nazo tazirabako.

 

Mbabazi agamba nti bba Charles Kagoda (40) akola gwakuvuga bodaboda mu kibuga Juba mu South Sudan yasooka kutya bwe yamugamba nga bwe yali alina abaana bana munda okusinziira ku ssikaani n’asooka aggyako n’essimu kyokka yagenda adda mpola engulu.

Agattako nti ebisale by’eddwaliro ebiri eyo mu kakadde akamu n’ekitundu ebibasabiddwa olw’obujjanjabi obuweereddwa ye nga maama yekka ng’ate bbiiru y’abaana tennafuluma bye bimulese ng’eky’okuzzaako takiraba.

Mbu Kagoda yavudde mu ddwaliro ng’asiibudde okugenda anoonye sente wabula ne gye buli eno tebamuwuliza. Mbabazi yalongoosebwa ku Ssande mu ddwaliro lya Mukono Church of Uganda Hospital emisana ssaawa nga mukaaga n’adda bulungi engulu wadde ng’abaana baali tebannakula bulungi era bakuumibwa mu kasenge omubeera abaana abatannatuuka ng’abasawo bwe babeekebejja.

Rachael Mbabazi mama wa 4

Bano batuuze ku kyalo Bukasa mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono wabula ng’eno bapangisaayo bupangisa.

Mbabazi yeekubidde enduulu eri abazirakisa okuli Maama Fiina, Ssaabaminisita wa Uganda Robina Nabbanja n’abalala okuvaayo bamudduukirire kuba n’amabeera talina olw’okuba abaana bangi nga talina gabayonsa kubakkusa nga yeetaaga okugula eg’emikebe babatabulire babawe naye ensimbi zimwekubya mpi.

Mulamu wa Mbabazi nga ye Margaret Muteekanga, abeera e Mulago mu kibuga Kampala akoowodde Kyabazinga wa Busoga oba eyali sipiika wa palamenti era ssaabaminisita nnamba bbiri, Rebecca Alitwala Kadaga okuvaayo babadduukirire ne bagamba nti Mbabazi yazadde omumbejja n’abalangira ba Busoga basatu.

Mbabazi ne Kagoda balina abaana abakulu babiri okuli Jordan Kagoda ow’emyaka 9 ne Jeremiah Kagoda ow’emyaka ebiri.

Twogedde ne Sr. Sarah Racheal Nsubuga, atwala waadi omukuumirwa abaana abazaalibwa nga tebanneetuuka n’atubuulira embeera nnakawere Mbabazi n’abana gye balimu.

Sr. Nsubuga agambye nti bonna bano tebali mu mbeera mbi wadde ng’olw’okuba abaana baazaaliddwa nga tebannatuuka, bakyabakuumidde mu nnassale nga bwe beekebejjebwa abasawo kyokka naye n’agamba nti abazadde ensimbi ezisasula eddwaliro tebazirina.

Alina obuyambi bw’asobola okuwa Mbabazi osobola okubuyisa ku ssimu nnamba; , 0770834334 eri mu mannya ga Kagoda Charles ne 0704639407 mu mannya ga Mbabazi Rebecca.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top