Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga rtd.maj.Jessica Alupo agugumbudde abasomesa abeesuuliddeyo ogwa naggamba naddala mu masomero ga govt mu kusomesa abaana mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, baayogeddeko nga abattattana omutindo gw’ebyenjigiriza mu ggwanga.
Jessica Alupo asinzidde mu district ye kakumiro mu kuggulawo olukiiko ttaba miruka olw’ennaku ebbiri olw’abakulu b’amasomero n’abasomesa olutegekeddwa ssaabaminisita wa uganda rt.hon Robinah Nabbanja musaafiiri n’ekigendererwa eky’okubagula abasomesa ku birina okukolwa okutumbula omutindo gw’ebyenjigiriza mu kitundu ekyo.Jessica Alupo alaze obwenyamivu olw’empisa ezisiiwuuse mu baana najjukiza abazadde n’abaddukanya amasomero okukulemberamu okuzza empisa mu baana.
Ye Ssaabaminisita robinah nabbanja agamba omusomo guno gwakuyamba nnyo okutumbula eby’enjigiriza mu kitundu ekyo ebibadde bisereba buli kiseera olw’abaddukanya amasomero n’abasomesa mu kitundu ekyo obutamanya bulungi kyakukola..
Ye minister avunanyizibwa ku by’enjigiriza eby’amatendekero aga waggulu owek hon Dr John Chrysostom Muyingo ajjukizza abasomesa wonna mu ggwanga okufaayo ennyo ku neeyisa yabwe, nga amateeka agabafuga bwegalambika, beewale okukola ebintu ebibaweebuula gamba nga ettamiiro, okuganza abayizi, okwebulankanya ku mirimu n’emize emirala egiswaza ekitiibwa ky’omusomesa.
Olukiiko lwetabiddwamu abakwatibwako ebyenjigiriza okuva mu district ezikola bunyoro, ba ssentebe ba zi district, ba RDC, abasomesa n’abakulira amasomero