Amawulire

Mayiga awagidde minista Balamu okuyimbula aba NUP

Owek. Charles Peter Mayiga awagidde ekya Minisita omuggya Balaam Barugahara okukulembera enteekateeka y’okuyimbula bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) abakwatibwa ku nsonga z’ebyobufuzi.

Obubaka buno Kamalabyonna Mayiga abuweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna bw’abadde akwasa bannakisinde ki Patriotic League of Uganda (PLU) abakiise embuga okuwagira enteekateeka y’Emisinde gy’ Amazaalibwa ga Kabaka egy’omwaka guno.

“Tulwanirire okwegatta kwa bannayuganda, Uganda ffenna tujjaamu bulungi. Kyenavudde nsanyukira Hon. Balaam bweyagambye nti agenda kukwatagana ne Pulezidenti balabe nti aba NUP bebakwata bateebwa era nze muwagira mwekyo. Atabeerangako mu kkomera yatamanyi bizibu bya kkomera, bwoba tobeerangayo buuza eyali abaddeyo, ” Kamalabyonna Mayiga bw’ategeezezza.

Owek. Mayiga yenyamidde olw’abasibe bano ababadde mu kkomera okumala emyaka esatu nakakasa nti singa bano bayimbulwa kyakuyamba okuweweza emitima gya bannansi.

Katikkiro Mayiga asabye bannakisinde ki PLU okukulembeza omwoyo gw’eggwanga mu buli kyebakola eggwanga lisobole okukula. Bano era abasabye okubeera abeesimbu mu buli kyebakola naddala abo abali mu bifo by’obukulembeze kubanga kyekibasuubirwamu.

Ono asanyukidde ekya Patriotic League of Uganda okuvaayo nebeetaba ku nsonga eno ekwata ku by’obulamu n’okulwanyisa mukenenya nagattako nti enkulaakulana n’obukulembeze obulungi bizimbirwa ku byabulamu birungi.

Katikkiro Mayiga era abasabye okukulemberamu olutalo lw’okulwanyisa enguzi naddala mu kiseera kino ng’ebyenfuna si birungi bakwate n’okuwozesa abantu ababba ssente za gavumenti ensi esobole okutereera kubanga enguzi yeesinze okwonoona ekifaananyi ky’eggwanga Uganda.

Aba PLU nga bakulembeddwamu Kabbyanga Godfrey Baluku basuubizza okukolagana n’Obwakabaka bwa Buganda ku nsonga zonna ezigendereddwamu okusitula obulamu bw’abantu n’okuleeta emirembe mu Uganda.

Minisita Kabbyanga atenderezza kaweefube ow’enjawulo Obwakabaka gwebutaddewo okukyusa obulamu bw’abantu n’okuleeta emirembe mu ggwanga era n’ategeeza nti by’ebimu ku bibawadde amaanyi okubwegattako.

Ensisinkano eno yeetabiddwamu Baminisita ab’enjawulo mu Gavumenti eyawakati, ababaka ba Palamenti n’abakungu ab’enjawulo.

Bano bawagidde enteekateeka eno nga baguze emijoozi gya bukadde 20 era nebasuubiza okwenyigiramu butereevu.

Share this:

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top