Amawulire

Mbega wa CIA ayogedde engeri gye yatta omuyimbi Bob Marley ne kkansa, bitiisa

Bill Oxley owemwaka 79 ng’ono yali Mbega wa CIA abotodde ebyama n’akkiriza nga bweyatemulira gavumenti ya America abantu 17 wakati wa 1974 ne 1985 nga mu be yatta mwemuli n’eyali  nnakinku mu kuyimba ennyimba ez’ekika ekya reggae Robert Nesta Marley abangi gwe bamanyi nga Bob Marley. Bino Oxley yabyogeredde ku kitanda gyeyaddusibwa ng’ataawa mu ddwaliro eriyitibwa Maine oluvannyuma lw’okumugamba nti asigazza ssabbiiti 3 okuva mu bulamu bw’ensi eno ewooma.

Mwami Oxley yakolera ekitongole kya CIA okumala emyaka 29 era nga yali wa ddaala lya waggulu ddala, agamba nti yakozesebwanga ekitongole ekyo okutemula abantu ssekinnoomu be baalabanga nga bakatyabaga eri ebigendererwa by’ekitongole kya CIA. Namukadde  Oxley ow’emyaka 79 agamba nti yali omu ku kakundi ak’abantu 3 abaatemulanga ba nnabyabufuzi mu America oluusi ne mu mawanga amalala, era  agamba nti baasinga kutemula bannabyabufuzi, bannamawulire, abakulira abeegassi, bannassaayansi abatonotono,abanoonyereza ku by’eddagala, abayimbi, bannakatemba ne be baalabanga nti ebirowoozo n’enkola zaabwe bitiisa era nga bya katyabaga eri ebiruubirirwa n’enkola za America.

Mbega ono agamba nti teyafunamu buzibu ku ky’okutta Bob Marley, kubanga “nali mwoyo gwa ggwanga, nakkiririzanga mu CIA, era saafangayo kubuuza biruubirilwa bya kitongole kubanga nkimanyi oluusi saddaaka zeetaagisa okukolebwa ku lw’obulungi obw’ensonga ezimu.” Mwami Oxley yayatudde n’agamba mu bantu be yatta, Bob Marley asigala wanjawulo ye yekka gw’awulirako ennaku mu bonna be yatta, Oxley agamba “Marley yali muntu mulungi, ng’alina ekitone ekisuffu nga yali tasaana kuggyibwa mu bulamu bw’ensi mukiseera ekimpi byekityo.

Oxley agamba “twasooka kumulabula. netukuba amasasi ku maka ge mukibuga Kingston n’alumizibwa omukono ne mukifuba era netumulabula naye teyawuliriza.” Oluvanyuma lwe nnaku bbiri (2) Bob Marley ng’amaze okulumbibwa ab’emmundu mu Kingston, yajanjabibwa n’agenda mu nsozi za blue mountains eyo gyeyamala ebbanga nga yegezesamu mukuyimba olw’ekivvulu kyeyali yetegekera. Okusiziira ku Oxley, agamba yakozesa ebiwandiiko bya bannamawulire okusobola okutuuka ku Bob Marley gyeyali awummulidde mu nsozi za Blue mountais. Yeefuula omukubi w’ebifaananyi omumanyifu ow’olupapula lwa New York Times n’awa Bob Marley ekirabo.

Yamuwa engatto ey’ekika ekya converse size 10. Bweyagyegezaamu n’alekaana, mu ngatto mwali mutereddwamu akayiso akaali kateereddwako obuwuka obulwaza kkansa era akayiso bwekaamufumita nekamulwaza obulwadde bwa kkansa. Oluvannyuma obulwadde bweyongera n’atwalibwa okufuna obujanjabi. Oxley agamba nti yeekuumira kumpi ne Bob Marley mu malwaliro gyeyatwalibwanga, mu Paris, London ne mu America akakasize ddala nti obujanjabi bwebawa Marley bumwongera bulwade so ssi kumuwonya.                                                               

Ensonga lwaki batta Bob Marley; Oxley agamba Marley yali anyigirizza ebiruubirira bya CIA era ng’afuuse wabulabe kukubeerawo kwa America. Bob yali afuuse muwanguzi ng’atonzeewo enkyukakyuka ng’ayita mu kuyimba ekyafuuka eky’okulwanyisa eky’amaanyi n’okusinga amasasi ne bbomu. Mu 1976 Bob Marley yeeyongerera ddala okuba entiisa eri akakundi akafuga ensi eno n’ebigendererwa byako bye kaagala okuteeka munkola (New World Order) era nga CIA egamba nti Bob Marley yali atuuse wala, nga mumanyifu nnyo, ng’abantu bamuwuliriramu nnyo, nga CIA eraba ayingirira ebigendererwa byayo. Kale ekyamazima ye yeeyitira okufa. Marley yafa obulwadde bwa kkansa mu Maayi wa 1981 era yafa nga wa myaka 36 gyokka.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top