Amawulire

Minisita alagidde poliisi ekwatte aba Yinvesita Abachaina

Ba yinvesita bannansi ba China babiri batuuyanye nga bwe zikala, Minisita atwala ensonga z’abakozi n’ekikula ky’abantu, Betty Amongi bw’alagidde bakwatibwe.

Bano ogubakwasizza kwe kugaana Minisita Amongi n’abakozi okuva mu minisitule okulambula ekkolero lino okulaba embeera y’abakozi gye balimu.

Abakwate abategeerekese nga Abawa ow’emyaka egikuliriddeko ne Jua Jang abamu ku batwala ekkolero ly’engatto erya Pumps and Heels Company erisangibwa mu kibangirizi ky’amakolero e Namanve nga ligwa w’ansi w’ekibangirizi ekitwalibwa SunBelt Group Limited. Eby’embi bano babadde boogera Luchayina lwokka kyokka ne bwe wafunyiseewo abavvuunulira era basigadde beeremye ekiggye minisita Amongi mu mbeera.

Bwe bawalirizza ne bayingira, basanze nga kaabuyonjo munda mu kkolero lino nkyafu nnyo ate nga temala okusinziira ku muwendo gw’abakozi abakoleramu, nga tebalina kifo bakozi we bakyusiza ngoye ssaako obutaba na biziyiza bakozi kufuna bubenje mu ffakitole gamba nga ggambuutusi, ebikoofiira by’okumitwe, ggiraavuzi n’ebirala.

Minisita era ategedde nga bano abakozi tebabawa mabaluwa gabakakasa ku kirimu, tebabasasulira nsimbi za NSSF ssaako okuba nga tebakkiriza muntu yenna kuyingira eno nga bazze balemesa RDC ssaako atwala ensonga z’abakozi mu disitulikiti y’e Mukono okuyingirayo nga betera okuweereza abasirikale ab’amagye ne babatwala entyagi.

Minisita era alambudde n’amakolero amalala okuli Royikem Industries abakola emifaliso gya Rose Foam esangibwa e Mbalala mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono, Tian Tang nayo esangibwa e Mbalala nga bakola mitayimbwa, mabaati, emifaliso ne plywood n’ebintu ebirala bingi. Bano era baalambudde ne ffakitole ya Royal Van Zanten esangibwa mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono.

Minisita Amongi agambye nti baasazeewo okukola okulambula kuno ng’ezimu ku nteekateeka ezaakulembedde emikolo gy’okukuza olunaku lw’abakozi olw’ensi yonna olugenda okubeerawo ku Ssande nga May 1.

 

Yagambye nti ebyo bye basanze ebitagenda bulungi mu ffakitole zino eri abakozi, bajja kuba baddayo batuule ne bannanyini makolero gano balabe embeera z’abakozi bwe ziyinza okutereezebwa.

Ye nnanyini wa kkampuni ya Royikem ekola emifaliso gya Rose Foam, Robert Zikusooka alaajanidde gavumenti ku miwendo gw’ebintu bye bakozesa omuli n’amafuta egisusse okukalaama n’agamba nti kino kyolekedde okubagoba mu mulimu.

Zikusooka agambye nti kye bakola kwe kusala ku misaala gy’abakozi oba n’okubasalako ku mirimu ate ekitali kirungi n’agamba nti ate eby’embi, mu mbeera eno ate yo gavumenti ekanya kwongeza musolo gw’ebakana n’asaba omusolo gukendeezebweko okutuuka ng’embeera ezze mu nteeko.

“Abamu twesanze nga tukolerera kimu kusasula misaala gy’abakozi mpozzi n’okuwa omusolo gwa gavumenti, emyezi giweze ena nga kkampani tekola magoba, kati eky’okukola naffe kitubuze,” bw’annyonnyodde.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top