Amawulire

 Minisita Chikunga abbiddwa, abakuumi emmundu zitwaliddwa.

Minisita w’ebyentambula mu ggwanga erya South Africa Sindisiwe Chikunga, awanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi okunoonya ababbi, abaatutte ebintu bye.

Minisita Chikunga agamba nti bwe yabadde ku luguudo, emmotoka yafunye obuzibu ku mupiira nga gulina okukyusibwa.

Mu kiseera nga bakanika emmotoka, abasajja bazze nga bali ku Pikipiki nga bonna bayambadde obukookolo ne bamuteeka emmundu ku mutwe.

Yasabiddwa okuwaayo ebintu byonna okusobola okutaasa obulamu.

Minisita yawaddeyo ebintu bye omuli kompyuta ekika kya laptop, amassimu, ensawo ne batwala eky’okulwanyisa byabakuumi.

Ng’omuntu omulala yenna, agamba nti yabiddwa wakati w’eddakika 3-4, ababbi ne badduka.

Asabye ebitongole ebikuuma ddembe okunoonya ababbi kuba mu kompyuta mwabaddemu fayiro ez’enjawulo.

Mungeri y’emu agamba nti ababbi bagezezaako n’okutwala empeta y’obufumbo wabula yasobodde okubategeeza nti yamuweebwa bba kati omugenzi, kwe kumusonyiwa.

Wadde Minisita Chikunga yabadde agezaako okusaba Katonda, omubbi yamusuubiza okumukuba essasi ku mutwe singa addamu okuyita Omutonzi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top