Amawulire

Minisita Kadaga asabye bannaddiini okubuulirira abagoberezi babwe enjiri y’okugatta amawanga ga East Afirika.

Omumyuka wa Ssaabaminisita Asooka era Minisita w’ensonga za East Africa, Rebecca Alitwala Kadaga agamba nti bannaddiini balina omulimu gw’okuliisa abagoberezi babwe enjiri y’okugatta amawanga ga East Africa.

 

Minisita Kadaga ategeezezza nga bannaddiini bwebalina abagoberezi abangi ababawuliriramu nga kyangu abantu okutegeera n’okukkiririza mu kwegatta kw’amawanga gano.

 

“ Eddiini ez’enjawulo zirina obusobozesa okukyuusa abantu, okubagatta awamu n’okubasigamu obumu era ziyambye abantu bangi okuwa okuwangaalira awamu. Muyambye abantu mu byenjigiriza, eby’obujjanjabi n’okutekaawo obwenkanya awamu n’enkulaakulana,” Kadaga bwe yagambye.

 

Obubaka buno Kadaga abuweeredde mu nsisinkano gyeyabaddemu n’olukiiko olutaba enzikiriza olwa Inter-Religious Council of Uganda ku kwegatta kwa East Africa ku wooteri Africana mu Kampala.

 

Kadaga agamba nti wadde waliwo ebituukiddwako mukwegatta kw’amawanga gano mu myaka 20 agayise wakyaliwo obwetaavu okulaba nti abantu mu mawanga gano beenyigira mu nteekateeka eno.

 

Kulwa Ssentebe w’olukiiko olutaba enzikiriza, Paasita  Dr. Joseph Sserwadda yasabye abawomye omutwe mu nteekateeka eno okulaba nti okwegatta kutwaliramu bannansi kuba abamu banguyirwa era bamanyi nnyo emikago nga ogwa UN okusinga ogw’ amawanga ga East Africa.

 

Ono era yalaze okutya olw’okuba bannaddiini tebeenyigidde mu nteekateeka eno butereevu nga bwekiri ku bannamateeka n’ebibiina ebirala era asinzidde wano nasaba kino kitereezebwe.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top