Amawulire

Minisita Kyewalabye asabye gavumenti eyongere ssente mu by’Obulambuzi

Minisita w’Obuwangwa, Obulambuzi n’Embiri, Oweek. David Kyewalabye Male,  asabye gavumenti eyongere ssente mukutumbula eby’obulambuzi kubanga byebimu ku biwaniridde eggwanika ly’ eggwanga.

Okusaba kuno Owek. Kyewalabye akukoledde ku kabaga akaategekeddwa ekitongole ky’Obwakabaka eky’Ebyobulambuzi (BHTB), nga bali wamu ne Miss Tourism Uganda, okuyozaayoza Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu ggwanga,  Sydney Nabulya Kavuma olw’okuwangula obukulu buno ku biyiriro bye Kalagala mu Bugerere.

Owek. Male yeebazizza nnyo Nabulya olwa kaweefube gwe yateekamu okutuuka ku buwanguzi era n’amukuutira okukuuma omutindo, akiikirire bulungi Obwakabaka mu mpaka z’ensi yonna zaagenda okwetabamu.

Minisita Kyewalabye yeebazizza nnyo ne Maama Nnaabagereka olwa kaweefube gw’atadde ku nkulaakulana y’omwana omuwala mu Buganda.

Ye Nnalulungi Nabulya Sydney Kavuma, yeebazizza nnyo Gavumenti ya Beene, ekitongole eky’obulambuzi ne Obuganda bwonna olw’obuwagizi obw’omuggundu. Yasuubizza okukiirira bulungi Buganda ne Uganda mu mpaka z’ensi yonna z’agendamu ssabbiiti ejja e Malaysia.

Akabaga keetabiddwako Mugerere, Oweek. James Ssempigga, Omumyuka we Hajj Bashir Ziraba, Abaami ba Ssaabasajja ku mitendera egy’enjawulo, Omuk. Busuulwa Farooq eyakiikiridde Ssentebe wa BHTB, Ssenkulu wa BHTB Omuk. Victoria Kayaga Kiggundu, Omw. Luggya owa Miss Tourism Uganda.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top