Amawulire

Minisita Namuganza yasabye ab’e Busoga okwekwata enkola ya Parish Development Model

Minisita Namuganza yasabye ab’e Busoga okwekwata enkola ya Parish Development Model

Ab’e Busoga bonna bakubiriziddwa okwettanira enteekateeka za gavumenti kibasobozese okukulaakulana nga beeyunga ku Parish Development Model (PDM).

Bino byogeddwa Minisita omubeezi ow’amayumba Persis Namuganza bw’abadde asisinkanye Abakulistaayo ku kkanisa ya St Mary’s Church of Uganda ku kyalo ky’e Bugwe mu disitulikiti y’e Namutumba.

Namuganza ategeezezza nti abantu b’e Busoga balina okwegaggawaza nga bayita mu nkola za gavumenti nga eya PDM n’abasaba okuloopa buli muntu yenna ey’ekiika mu pulogulaamu za gavumenti kuba bbo nga ab’e Busoga obwavu bubazinzeeko lwa kwesiba ku kintu kimu nga kati guvementi k’ebalowoozezzaako bakole n’amanyi bave mu kulera engalo.

Abakubirizza okwekuuma n’obulwadde bwa Covid-19 kuba bukyaliyo.

Okusaba we kuwedde n’alambuzibwa ettaka ly’eKkanisa Abakulistaayo lye bamutegeezezza nti waliwo abalitunda kyokka nga ttaka lya Gavumenti n’alabula bonna abakikola okukikomya.

Ye Rev Ivan Waako ategeezezza nti Bannayuganda balina okwagalana  n’okusonyiwagana kisobozese enkulaakulana okugenda mu maaso.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top