Amawulire

Minisita Nandutu agamba nti emisango egimuvunaanibwa tegirambikiddwa mu ssemateeka.

Minisita Omubeezi ow’ensonga z’e Karamoja era omubaka omukyala owa Buduuda, Agnes Nandutu ayagala okuwulira emisango egimuvunaanibwa mu kkooti ewozesa abalyake giyimirizibwe ng’agamba tegirina muzinzi era tegirambikiddwa mu ssemateeka.

Nandutu ayise mu balooya be abakulembeddwa Caleb Alaka n’asaba Omulamuzi Jane Okuo Kajuga owa kkooti ewozesa abakenuzi ayimirize okuwulira omusango guno era fayiro yaabwe esindikibwe mu kkooti etaputa ssemateeka esooke yeekeneenye emisango egivunaanibwa Nandutu.

Nandutu avunaanibwa okubeera n’ebintu bya gavumenti nga bigambibwa okubeera ebibbe oba ebyafunibwa mu makubo amakyamu.

Alaka ategeezezza omulamuzi nti emisango gy’okubeera n’ebibbe walina okubaawo omuntu eyasingiddwa omusango gw’ebibbe ng’alinze ebintu ebyo okukomezebwawo, kyokka ku Nandutu si bwekiri.

Ayongeddeko nti kimenya mateeka okuvunaana omuntu emisango egitalina makulu era egitategeerekeka.

Kyokka omuwaabi wa gavumenti, David Bisamunyu agambye nti bano baleese kakodyo kakuzingamya musango kubanga tewali kyetaaga kutaputibwa era omusango gulambikiddwa bulungi, n’ekibonerezo ekiweebwa gwe guba gusinze.

Bisamunyu bw’atyo asabye omulamuzi okusaba kwa Nandutu akugobe kubanga babadde baleese n’abajulizi, era nga bagoberera enkola ya ssemateeka okuwulira amangu omusango omuntu afune obwenkanya.

Empaaba y’oludda oluwaabi egamba nti mu June 2022 ku ofiisi ya Katikkiro wa Uganda mu Kampala ne ku kyalo Kkola e Bulwanyi mu distukiti y’e Mukono, Nandutu yalina amabaati 2000 nga galiko laama ya ofiisi ya Katikkiro wa Uganda ng’alina ensonga okumanya nti amabaati ago ga gavumenti era gaabuzibwawo n’alyoka agafuna.

Oludda oluwaabi mu bujulizi bwerusuubira okwesigamako bulaga nti Nandutu yalondebwa pulezidenti Museveni nga June 21, 2021 n’aweebwa minisitule y’e Karamoja emu ku minisitule ezeetaaga ennyo okulaga by’ekoze, era ng’ekulirwa minisita Mary Gorreti Kitutu Kimono. Bano baakolera wamu okugaba n’okufuna amabaati.

Poliisi bwe yatandika okunoonyereza kigambibwa nti yagenda mu maka ga Nandutu era amabaati 1617 ne gazuulibwayo wabula amalala 383 teegaliiwo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top