Ebyobulamu

Minisita Ruth Aceng agumizza bannakampala

Minisita w’ebyobulamu, Jane Ruth Aceng ategeezezza nti sampolo eyaggyiddwa ku mulwadde e Kasangati nga ateeberezebwa okubaamu Ebola kizuuliddwa nti ono teyasangiddwamu kirwadde kino.

Minisita Aceng asinzidde wano mu Kampala nasaba abantu okusigala nga beerinda ekirwadde kino era  kubanga kya bulabe nnyo.

“Sampolo eyaggyiddwa ku mulwadde  eyafiiridde e Kasangati, teriimu Ebola, ekitegeeza nti tanatuuka Kampala,”

Kinajjukirwa nti ku Lwokubiri ekirwadde kino kyabalukawo e Mubende era nga kibadde kiteeberezebwa okutuuka e Wakiso oluvannyuma lw’omuvubuka okufiira e Namulonge, Busukuma nga alina obubonero nga obwa Ebola.

Abasawo ku ddwaliro lya Kasangati Health C        entre IV bafunye Sampolo okuva ku bantu abeekenenyezebwa nga muno mulimu taata w’omuvubuka awamu nowa Booda booda  eyamutambuza.

Webutuukidde olwaleero nga Ebola asse abantu abawera 23 e Mubende nga n’omuvubuka bweyafiira e Kasangati n’obubonero bwa Ebola kyaleetera aba Minisitule y’ebyobulamu okusattira.

Webwazibidde eggulo nga abalina ekirwadde kino bali 18 okuva mu disitulikiti okuli Mubende, Kyegegwa ne Kasanda.

Oluvannyuma lw’obunkenke okweyongera, amaka g’Obwapulezidenti galangiridde nga omukulembeze w’eggwanga bwagenda okwogerako eri eggwanga leero ku Lwokusatu ku nsonga enkulu eziriwo nga mwemuli n’ekirwadde kya Ebola.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top