Amawulire

Minisita wa Russia owebyokwerinda yeegase ku balwanyi mu Ukraine.

Minisita wa Russia ow’ebyokwerinda yeesozze eddwaaniro mu Ukraine okuzzaamu

abalwanyi amaanyi n’alambula n’ebimu ku bibuga ebyawambibwa Russia.

Sergei Shoigu yasookedde mu kibugaMariupol eggulo gye yalambudde ebizimbe.

12 ebya kalina ettaano buli kimu ebizimbibwa okuzzaawo ekibuga kino ekyakubwa

okumala ebbanga ng’amagye ga Ukraine aga Azov Regiment galemedde mu ffakitole

ya Azov Steel factory ekola emitayimbwa.

Ekibuga ekyo kyayonoonebwa nnyo olw’olutalo nga kumpi buli kizimbe ekikirimu

kyakubwa.

Yalambudde n’omukutu gw’amazzi oguzimbibwa okutuusa ku bantu amazzi amayonjo.

mu Ssaza ly’e Donetsk nga gava ku mugga ogumanyiddwa nga Don River. Ono ye munene mu Gavumenti ya Vladimir Putin Pulezidenti wa Russia asoose okukyala mu Ukraine bukya lutalo lutandika omwaka oguwedde.

W’akyaliddeyo okuzzaamu abalwanyi amaanyi nga n’abanene mu Gavumenti

za Bulaaya ne Amerika bakyala mu Ukraine mu kibuga Kiev awali ekitebe kya

Gavumenti erwana ne Russia ng’akyasembyeyo ye Joe Biden Pulezidenti wa Amerika.

Mu ngeri y’emu, waliwo amawulire agataakakasiddwa agalaga nti, mu kulwanira

ekibuga Bakhmut mu buvanjuba bwa Ukraine nga Russia eneetera n’okukiwamba,

bamasinale ba Putin aba Wagner baafunye obutakkaanya obw’amaanyi mukama waabwe Yevgeny Prigozhin n’atuuka n’okulemesebwa okuyingira olukiiko olulimu amagye ga Russia.

Kigambibwa nti, Russia yanyiiga olw’omukulu oyo okwogera ne bannamawulire ku

mikutu gya Bulaaya nti, Russia ebawa eby’okulwanyisa bitono ekibaleetedde okulwawo okuwamba ekibuga Bakhmut

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top