Amawulire

Minisitule y’ebyobulamu esabye banaUganda okukolera awamu.

Minisitule y’ebyobulamu esabye banaUganda okukolera awamu okulwanyisa obuli bwenguzi mu malwaliro okusingira ddala okulopanga abasawo abasaba enguzi okujanjaba abalwadde kisobole okuyambako munsonga y’ebyobulamu mu ggwanga.

Omuwandiisi wenkalakalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Diana Atwine bino abyogedde alambulula ebitukiddwako ministry eno nga kwotadde nebyo ebiri mu ntekateeka bwabadde ku office ya Ssabaminisita wano mu Kampala mu wiiki government ya NRM mwetegezeza eggwanga biki byekozeewo kwebyo byeyasubiza nga ejja mu buyinza ekisanja kino ekya 2021/2026.

Dr. Diana Atwine omuwandiisi wenkalakalira mu minisitule y’ebyobulamu ategezezza nti banaUganda balajana buli lukya olw’enguzi esusse mu malwaliro nga abasawo bwebasaba kitu kidogo okusobola okubajanjaba era nabo nebakiwaayo mukifo kyokubalabisa mu b’amateeka ekyandiyambyeko okujjawo omuze guno.

Atwine agamba ye buli wakolera alwanyisa nyo obuli bwenguzi nga ne bweyali akolera eMulago yalwana nyo okulaba nga omuze guno guvaawo nga ayita mubalwadde okumubuliranga abasawo ababasaba enguzi okubajanja era yakwata abasawo banji.

Atwine agamba minisutule esazewo okulongosa buli kikyamu ekibadde munsonga z’ebyobulamu mu gwanga nga era munongosereza eno mwemuli n’okujjawo Ambulensi ezibadde zitambuza abalwadde okubatuusa ku bujanjjabi kuba tezibadde ku mutindo nga eziretebwa zakubaamu ebijanjjaba omulwadde nga bwatambula okugeza nga oxygen nebirala.

 

Atwine agamba nti banaUganda beyongedde okulwala nga kyebatamanyi nti ebilwadde ebisinga babijja mu kulya ebitakwatagana era nasaba abantu okwegendereza mu byebalya nga kino kyakubayambako okulwanyisa ebirwadde mu mibiri kuba ne government tekyalina sente zigula ddagala lijanjaba nsi yonna.

Ono Mukumaliriza asabye buli muntu okumanya webajanjjabira obulwadde obuba bumuluma okugeza nga abalwadde ba cancer okumanyanga webamujjanjabira obutagendanga ku Health Center 4 kuba eddagala elijjanjaba cancer teribayo era nabebirwadde ebirala bwebatyo kibayambeko okufuna obujjanjabi obutuufu.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top