Emiwendo gya amafuta egilinya buli lukya gitandise okwogeza bana Uganda nadala abasubuzi nabo abakola mu byentambula obwama nga mukisera kino wano munda muggwanga lita ya petrol agula 4150 okuva ku 4050 at diesel agula 3710 okuva 3630 entu ekiwanisiza bangi emitima.
Abakugu bagamba nti kyadiba nga kivude ku muwendo gwa amafuta okulinya kukatale ke’nsi yona okuva mu December wa 2020 okwetolola ensi yona nga gano galinye okuva ku dollar 49.99 gye emitwaalo gya Uganda 181000 okutuuka ku dollar 65.41 gye emitwaalo 236000. Newankubade nga abasing balowooz nti okulinya kwa amafuta kwandiberamu ekobane lya gavumenti nekigendererwa akyo okufana emisolo mubanansi.wabula Rev. Franka Tukwasibwe kamisona wa entabuza ya amafuta ga petuloli mu ggwanga agamba nti gavumenti telina mukono wadde mukulinya kwa gasoline wabula galinya lwansonga nti
Abamu bagamba nti amafuta okulinya kivirideko emiwendo gye emere nagyo okulinya nga tegitaliza ne’miwdo gya amasanyalaze olwokuku ebitongole bya gavumenti nadala eya masanyalaze bikozesa omukisa guno nabyo okulinyisa emiwendo kubanga nakyo kikozesa amafuta nga kino abakugu bagamba nti kyandisula eggwanga lyatu mukatyabaga.
Mr Daniel Birungi, executive director of the Uganda Manufacturers Association, agamba nti okulinya kwa amafuta kwongera kunyika byanfuna bya ggwanga nga mukisera kino bili wansi nyo, kyoka bangi kubasubuzi ebya amaguzi byabwe batambuliza kungudo nga bakozesa motoka nga buli beyi yamafuta bwe paluuka baba tebalina kyakusalawo okujako nabo okupaaza beyi kwebatundira ebintu mukisera nga ne kilwadde kya Covid19 kyononye ebyobusubuzi.
Sekanolya yasobode okwogerako nabali mumulimu gwe ebyentambula nebategeeza nga embeera bweyongede okukaluba oluvnyuma lwa amafuta okulinya atenga gavumenti yabatekako obukwakulizo mukutiika abasabaze nga kino kyandibawaliliza nabo okulinyisa ebisale okusobola okusigala nga bakola.
Akulira ekibiina kya abavuzi BASS ekya United Buss Drivers Association Yunusu Kiggundu ategezeza nti bandiwalilizibwa okuyimiliza etambula zabwe kubanga tebakyasobola okwongeza bisale bukisera.
Wabula minisita wo busubuzi na amakolero Amelia Kyambadde nga awayamu no’musasi waffe ku lukomo lwe’siimu agumizza bana Uganda naddala abasubuzi nti okulinya kwaago kivude kubintu bisaatu. Ekisooka ekirwadde ekya covid19 eyakuba ensi yona ekyavirako amawanga agasinga okugenda kumugalo omwali no okuyimiliza entambula nga kino kyavirako mafuta okulwa kunyanja nga galetebwa nga kwotade ne ensi ezigakola okukendeeza kunfulumya yago. Ensonga eyokubiri yembalilra olwokuba gavumenti tenaba kuyisa mbalilira ya ggwanga ebera tefulumyanyo sente ekintu ekikosa emiwendo kubintu ebyenjawulo. Ekyokusatu bebananyini bizinesi za amafuta okubera nga bulyomo asalawo beyi okusizira wa gyagya sente nga nabamu bewola newole nga bino byona bikoseza entabuza ye’bya amaguzi muggwanga.
Ono agumiiza bana Uganda nti embeera yakuda munteko kubanga waliwo esuubi gavumenti okutandika okutunda amafuta gaayo oluvanyuma lwokumaliliza endagaano ezali zisigadeyo ne eggwanga lya Tanzaniya okulongosa amafuta agasimibwa mu district ye Hoima. Kyambadde abasabye okubera abagumikiriza ngabulijjo bbwebadde bakola. Ono era alabudde abasubuzi obuteyibala nga bapaaza emiwendo nga b’ekwasa amafuta nti wakubanika nga bwaze abanika.