Ssiri wakuttaliza basengula baantu minista mayanja 2023 amutandikidde mu ggiya. Mukama wange Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yankoonedemu nti ntmbulira ddala mu mulamwa gwe yasinziirako okunnonda ku bwaminisita bwebyettaka okusobola okuggusa olutalo lwe nnasanga atandise okununula ab,ebibanja abatulugunyizibwa ab,ebyapa abeeyita bannannyini ttaka.
Y’ensonga lwaki n’ebiragiro bye mpa bakulembeze bannange ku b’ebibanja bitwalibwa nga bya nkomeredde.Mbiwa nsiiziira ku mateeka ge ntegeera obulungi.Kiino pulezidenti yakikakasizza ku nkomerero y’omwaka bwe yabadde asisinkanye abasunsuzi b’amawulire mu State House e Nakasero nga waabaddewo ankonjera agagambo nti ebiragiro by’empa bifu.
Minista Mayanja
Pulezidenti antegeera mu mateeka
Pulezidenti amanyi bulungi obusobozi bwange mu kutapuuta amateeka n’obumalirivu mu kulwanirira abatulugunyizibwa.
Y’ensonga lwaki neegendereza buli kye nkola nga saagala kumuswaza olw’obuwagazi bwampadde mu kuggusa olutalo lwe yantumako.
Bannayuganda baakwongera okundaba mu bitundu byabwe nga mbalwanirira okumalawo obutali bw’enkanya mu ggwanga lyaffe ku ttaka.
Ndabye ebyewunyisa
Ekyennaku mu ofiisi pulezidenti mwe yanteeka ndabiddemu ebinene ebyewuunyisa omuli n’abasajja abakulu abatali beesimbu nga Dr.Kaggwa ow’e kakunyu gwe nnalwanirira okununula ekibira kye ekyali kimutwalibwaako ate okwekyusa n’ayagala okutwalibwaako ate okwekyusa n’ayagala okutwlira amateeka mu ngalo okusengula ab’ebibanja abasoba mu 1000 olw’ekyappa ly’agenda awuuba n’okutiisatiisa olw’okuba awagirwa ab’emmundu kye sitagenda kukkiriza kubeerawo okutuusa nga kirangiridwa nti uganda tekyafugibwa mateeka wabula biragiro by’emmundu.
Kaggwa y’omu ku bagagga wadde ku mulembe gwa Museveni.
Dr.Kaggwa y’omu ku bagagga pulezidenti Museveni be yannyumiza abasobodde okukola ku gavumenti ya NRM olwenteekateeka ennungamu z’ezze eteekawo. Museveni era yalabula abagagga abagula ettaka nga tebagoberedde mateeka nga kino yakiteeka nga kino yakiteeka mu buwandiike ng’abala nti okugula ettaka okuli ow’ekibanja obeera oguze mpewo kubanga amateeka gakakasa ow’ekibanja okubeera n’obwannannyini obwenkomeredde kukibanja kye.
Essaawa yonna ab’ebibanja bagenda kuweebwa ebyapa mu nongoosereza ze tugenda okuleeta mu mateeka g’ettaka.
Pulezidenti alina okulwanirira bannamwandu
Pulezidenti alina okulwanirira bannamwandu,enfuzi ne bamulekwa abatulugunyizibwa ab’ebyapa.
Kino kya Bwakatonda ne Bayibuli ekyogerako okubalwanirira.Abantu nga Dr.Kaggwa balina okuggulwako emisango agy’okukozesa eryanyi okusalimbira ku bibanja by’abantu ,okwonoona ebintu by’abeebiba.Abapoliisi bamba nti baamukwata ne bamuggulako emisango n’ayimbulwa ku kakalu kapoliisi akaamuweebwa Ssemateeka ng’okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso annyonnyole lwaki yatuuka n’okuziikula emirambo mu ttaka ate nga musajja Muganda.
Tukimanyi nti Dr.Kaggwa ayinza okukozesa ssente ennyingi z’alina okuwulirwa olw’enguzi gy’agenda okuwa abapoliisi bakole ffayiro ennafu nga bakimanyi nti omuwaabi wa gavumenti tagenda kugiyisaawo okutwalibwa mu kkoti atandike okuwozesebwa naye kino kigenda kubeera kizibu nnyo olw’omukyala Justine Mbabazi,RDC w’e Wakiso ensonga eno AGENDA GIGOBERERA OMUKONO gw’etteeka omuwanvu gukwate Dr.Kaggwa, wadde yeeyita omusajja ow’amanyi ennyo mu ggwanga.