Miss Uganda Karema Tumukunde agudde mu bintu oluvannyuma lwa yunivaasite ya tekinologiya eya ISBAT okumuwa sikaala okusomera obwereere kkoosi yonna gy’ayagala, ate banne abalala 4 abaamuddirira, nabo ne baweebwa sikaala ez’ekitundu okusoma kkoosi ze baagala.
Bano beeyanjudde ku yunivasite eggulo ku Lwokusatu wamu n’abayizi abapya abaakeegatta ku ISBAT okubayisa mu birina okugobererwa nga bali ku yunivaasite eno .
Baayaniriziddwa Vice Chancellor, Polof. Mathew Kattampackal, Dr Kumar Pradeep ddayirekita w’ebyenjigiriza, Dr. Paul Giju Academic Registrar, Dr. Tom Nsubuga akulira okunoonyereza ne projects ku ISBAT, n’akulira kkampuni y’essimu eya Airtel Manoj Murali.
Miss Uganda Karema ne banne okuli; Whitney Martha Ademun , Premah Proscy Agwanga , Jerusha Muwanguzi ne Jessica Sserwadda , baabadde bawerekeddwaako akulira okutegeka empaka za Miss Uganda Brenda Nanyonjo.
Ono yasiimye ISBAT olw’okuyamba omwana omuwala, n’ategeeza nti sikaala zino zigenda kubayamba okwongera emisomo gyabwe mu maaso, nti era mukisa gwa maanyi abawala bano gwe bafunye okusomerako mu yunivasite ey’amaanyi mu ggwanga mu bya tekinologiya.