Tekinologiya

MTN eyongezza obubonero bwa senkyu

MTN eyongezza obubonero bwa senkyu

MTN Mobile Money Ltd eyongezza ku mewendo gy’obubonero bwa senkyu (Senkyu points) era nga kasitoma afuna obubonero 15 ku buli siringi 100 ky’asasula ng’ajjayo ssente ku Mobile Money (MoMo)era nga zikuweebwa ojjayo ssente.

Okwongereza kwekyo, okuweereza ssente eri kasitoma wa MoMo ng’okozesa apu ya MoMo kufuuliddwa kwa bwereere mu pulomosoni eyatandika nga 15 Museenene 2021 okutuuka eyo mu mwaka ogujja nga gutandise.

Akola nga ssenkulu wa MTN MoMo Uganda Ltd, Stephen Mutana, bweyabadde akola ekirango kino, yagambye nti pulomosoni eno egendereddwamu kuddiza ku bakkasitoma abettanira ennyo empeereza zaabwe.

“Nga tusemberera okumalako omwaka, twagala okusiima bakkasitoma baffe abettanira empeereza zaffe era y’ensonga lwaki tubaddiza obubonero buno, bwebasobola okukozesa okwongera okunyumirwa empeereza zaffe endala,” Mutana bweyannyonnyodde Ssekanolya.

Kati obubonero bwa MTN senkyu okujjayo ssente ku MoMo ziizino.

Omuwendo (UGX) Ebisale ebiziggyayo ewa agyenti (UGX) Senkyu Poyinti eziriwo Senkyu Poyinti empya
500 – 2,500 330 6 45
2,501 – 5,000 440 8 60
5,001 – 15,000 700 14 105
15,001 – 30,000 880 16 120
30,001 – 45,000 1,210 24 180
45,001 – 60,000 1,500 30 225
60,001 – 125,000 1,925 38 285
125,001 – 250,000 3,575 70 525
250,001 – 500,000 7,000 140 1,050
500,001 – 1,000,000 12,500 150 1,875
1,000,001 – 2,000,000 15,000 300 2,250
2,000,001 – 4,000,000 18,000 360 2,700
4,000,001 – 7,000,000 20,000 400 3,000

Obubonero bwa MTN senkyu bwateekebwawo n’ekigendererwa okuddiza kkasitoma akozesa empeereza za MTN. Kasita kkasitoma anyiga *141# neyegatta ku pulogulamu ya senkyu, olwo atandika okufuna obubonero olw’okukozesa empereza za MTN nga mulimu n’okuteekako Airtime ne bandozi, okukuba amasimu, okusindika obubaka, okukozesa data ne n’empeereza za MoMo nga; okuweereza ssente, okusasula, okuteeka ssente ku akawunti ya MoMo oba okuziggyayo ewa agyenti waabwe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top