MTN nga bali wamu ne bakayungirizi okuva mu SBG securities ne Crested Capital batandise okumanyisa Bannayuganda okwetooloola Uganda yonna ku bikwatagana ku mukisa gw’okugula emigabo. Kino kigendereddwamu okumanyisa Bannayuganda ku bikwatagana ku kugula emigabo basobole okwenyigiramu mu mukisa guno ogwa MTN Uganda bwe yawaayo emigabo gyayo amakumi 20 ku 100 eri bannayuganda.
Okumanyisa Bannayuganda ku mukisa guno, kitundu ku kkampeyini ya MTN ‘Uganda ye waka’ nga eyongera okunyweza emirandira gyayo okwetooloola wonna ng’ewa Bannayuganda ku bwannanyini mu kkampuni eno gaggadde. Omubaka wa Pulezidendenti e Jinja Elijah Madoyi, yasiimye kkampuni ya MTN Uganda olwokusomesa abantu b’e Jinja ku mukisa guno ogw’okugula emigabo mu kkampuni eno gaggadde.
Bannayuganda wano basobola okwefunira ku migabo gya MTN, nga buli mugabo gwa siringi 200 zokka wabula ng’entandikira ku migabo 500, n’okweyongerayo era kitegeeza nti olina okuba n’emitwalo 10 oba okussukkawo, okusobola okuwangula ku migabo gino. Emigabo gino gyateebwako ebirabo okusobozesa abantu okusaba nga bayita ku MTN MoMo.
Bwe yabadde akola omukolo gwokuggulawo okulambula kuno ku Nile Hotel, Wim Vanhellputte, Ssenkulu wa kkampuni ya MTN Uganda yagambye nti kino kyebaliko kigendereddwamu kuwa Bannayuganda okuba ekitundu ku kkampuni esukkulumye mu by’empuliziganya ne Mobile Money.
Ba kayungirizi ba MTN ba kusisinkana abantu mu bifo 300 okwetooloola Uganda yonna nga basomesa abantu ku mukisa MTN gwe yawa Bannayuganda.
Eky’okugenda e Jinja kiddiridde ekyefanaanyirizaako kwekyo ekyakolebwa e Kampala emabegako, era nga kya kwetooloola disitulikiti ez’enjawulo.
Jinja City delegates in attendance of the MTN IPO Town hall
MTN – Ebibuga Lira ne Mbarara byanirizza enteekateeka
Abantu mu kibuga Lira ne Mbarara baanirizza aba MTN awamu ne bakayungirizi baayo nga bakyaddeyo ku nteekateeka yaabwe eyokusomesa Bannayuganda okwetooloola Uganda yonna nga bamanyisa abantu ku mukisa gwokwefunira emigabo mu MTN.
Omukolo guno kwateekeddwateekeddwa abakulu mu MTN wamu ne bakayungiri ba MTN ku by’emigabo era neguweebwa omukisa abakulu mu ddiini so nga gwetabiddwako n’abasuubuzi wamu ne bannabyabufuzi n’abantu abalala.
Rev. Martin Odong, nga yeyatandikawo Pentecostal Fellowship Ministries nga naye yeetabye ku mukolo guno ogwabadde e Lira, yasiimye Kkampuni ya MTN olwokuwa munnayuganda owa wansi omukisa okufuna ku bwannayini, n’agamba nti kimusanyusa okuba nti kati naye asobola okwefunira ku bwa nnanyini mu kkampuni gaggadde.
Enid Edroma ng’ono maneja mu MTN, nga bali e Lira yategeezezza abantu nti kkampeyini y’okusomesa abantu, egendereddwamu kwagazisa bantu ba wansi nabo okwenyigira mu mukisa gw’okwefunira ku bwa nnayini mu kkampuni gaggadde ey’ebyempuliziganya ne Mobile Money nga ebawa okumanya ku kyonna ekyetaagisa nabo okusobola okwenyigira mu mukisa guno MTN gwe yassaawo ate nga baba basitula obutale bw’emigabo mu Uganda.
Olukuŋŋaana lwe Lira luno lwabaddewo mu kiseera kye kimu nga n’olwo olwabadde e Mbarara nalwo lugenda mu maaso. Luno lwetabiddwako omukungu mu MTN mu by’ensimbi Andrew Bugembe, nga naye yagambye nti okwongera ku muwendo gwa bannayuganda basaba emigabo, bataddewo ebirabo ebyenjawulo.
Omuntu yenna asobola ogwegulira emigabo nga akozesa essimuye. Kkasitoma wa MTN asobola okunyiga *165*65# ku ssimuye n’asooka okuggulawo SCD akawunti olwo n’asaba emigabo.