Amawulire

Muhoozi asabye kkooti egobe omusango ogwamuwaabirwa ku bubaga bw’amazaalibwa.

Lt Gen Muhoozi Kainerugaba,  asabye kkooti etaputa Ssemateeka  egobye omusango ogwamuwaabirwa olw’okweyagaliza obwapulezidenti n’okutegeka obubaga bw’amazaalibwa obw’emyaka 48 nga akyali mu majje mu nteekateeka egambibwa nti ayagala kusikira kitaawe ku bwapulezidenti.

Kino kiddiridde munnamateeka Gawaya Tegulle okutwala Muhoozi, Ssaabawolereza wa gavumenti n’Omudduumizi w’eggye ly’eggwanga mu kkooti ku bikolwa bya Muhoozi.

Kati Muhoozi wamu ne bano basabye kkooti egobe omusango guno kuba Tegulle yaguwaaba mu kkooti nkyamu nga tegwetaagisa kutaputa Ssemateeka.

“ Abawawaabirwa (Muhoozi, AG and CDF),  bagamba nti teguliimu nsa era gwawaabwa mu kkooti nkyamu kuba teguliimu nsonga yeetaaga kutaputa Ssemateeka era basaba gugobebwe era omuwaabi abaliyirire ssente zonna zebasaasaanyizza,” Okwewozaako kwa Muhoozi ne banne bwekusomye.

Gen Muhoozi annyonnyodde nti ebikujjuko by’ amazaalibwa ge aga 48 tebirina ngeri yonna gyebimenyamu Ssemateeka nga Tegulle bw’agamba.

“Omuwawaabirwa asooka (Gen Muhoozi) akakasa nti obubaga bw’amazaalibwa bweyategeka tebulina gwebumenyamu mateeka naddala ennyingo 2, 3, 208, 209, ne 2010 eza Ssemateeka w’eggwanga,” bwatyo bweyataddemu okwewozaako kwe.

Mu mpaaba ye gyeyakola mu mwezi gwa May. Tegulle yagamba nti ebikolwa bya Muhoozi  byeyategeka ku mutendera gwe ggwanga lyonna awamu n’ebitundu ebimu yali abikozesa okulangirira nga bw’agenda okuvuganya ku bwapulezidenti era bino yabiteeka neku mukutu gwe ku mutimbagano gwa Twitter  ekintu ekikontana n’ennyingo 208 (2)  eya Ssemateeka  egamba nti abajaasi n’eggye lya UPDF teribeere nakyekubira ku nsonga yonna.

“Ng’omujaasi akyaweereza mu UPDF, Omuwawaabirwa Asooka (Gen Muhoozi) yeyisa mu ngeri etali ya mpisa era yamenya amateeka alambika n’okufuga abajaasi mujje lya UPDF,” Ebimu ku biri mu mpaaba ya Tegulle.

 

Ye Ssaabawolereza wa gavumenti,  ategeezezza nti ku nsonga y’obubaga bwa Muhoozi yali tasobola kumulambika nakuwa ndowooza ye mu by’amateeka kuba buno tebulina webwogerwako mu Ssemateeka.

Gen Muhoozi era ategeezezza nti omuwaabi talina bujulizi bwonna bwaleese kulaga nti obubaga bwatemamu eggye ly’e ggwanga oba bwaggyawo obwesige abantu bwebalirinamu.

Bweyali awaaba, Munnamateeka Tegulle yategeeza nti Ssaabawolereza wa gavumenti yalemererwa okulambika n’okulaga  Gen Muhoozi nti ebikolwa byeyali agenda nabyo mu maaso byali bimenya Ssemateeka w’eggwanga.

Tegulle nga ayita mu bannamateeka be aba  Thomas & Michael Advocates ne Nalukoola Advocates & Solicitors,  yasaba kkooti ekome ku Muhoozi okugenda mu maaso n’ebikolwa bino ebirimu eby’obufuzi ebyawula nga akyali mu ggye lya UPDF kuba kimenya Ssemateeka.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top