Amawulire

Mukomye okwegomba abatutumufu abakola ebitakwatagana.

Janet Kataha Museveni akubye abayizi b’e Buddo akaama, “mukomye okwegomba abatutumufu abakola ebitakwatagana n’ebisomesebwa bayibuli.”

Bino abyogedde bw’abadde aggulawo ekisulo ky’abayizi abawala ekya Grace House ekyaggya ku ssomero lya Kings College Budo.

Nga 27 April, 2022, ekisulo ky’abayizi ekya Grace kyakwata omuliro . Omuliro gwasaanyawo ebintu bya bayizi  omuli ebitabo , emifaliso n’ebirala era nga gwasalako ekisulo kya siniya 1 , 2 , ne 3  naye temwali muyizi yakosebwa.

Omukulu w’essomero lino, John Fred Kazibwe bw’abadde ayogera yeebazizza  abo bonna abakwatiddeko essomero okulaba ng’ekisulo kiggwa era nti siba kukoma awo, wabula baakuddaabiriza n’ebisulo ebirala mu ssomero.

Ayanjulidde minisita ebimu ku bisoomooza essomero bye lirina nga ekisingira ddala bwe bubbi bw’ettaka obukyase.

Ategeezezza nti essomeroo liri mu kattu k’okusika omuguwa ne bannakigwanizi abaagala okubba ettaka lyaryo.

Minisita  t Kataha ategeezezza nti ekisulo kyakusuza abayizi abawera 312 era n’ategeeza nti guno mukisa gwennyini eri abaana abawala okweyongera mu ssomero lino okusobola okuvuganya n’abalenzi.

Yasuubizza nti minisitule yaakuyambako amasomero agedda agalina ebizimbe ebikadde okuddaabirizibwa okusobola okutumbula eby’enjigiriza.

Asinzidde wano n’ayogera ku bugwenyufu obweyolese mu mawulire ng’abaana beenyigira mu bukaba n’ategeeza nti amawulire galambika  nti waliwo abasomesa  wamu n’abakulu b’amasomero  abagambibwa okuba nti be batumbudde obugwenyufu buno  ekintu ekimalamu amaanyi abazadde abeesigisa abaana baabwe mu masomero.

Yategeezezza nti minisitule yaakwenyigira mu nsonga eno ng’ekwatagana ne poliisi mu kunoonyereza okulaba nga obwenkanya bubaawo eri abo abakosebwa mu nsonga eno.

Ayongedde n’abasaba okukomya okwegeraageranyanga ku bassereebu aba wano ne wabweru w’eggwanga abatagoberera njigiriza ya Bayibuli nga babayita abantu be beegomba (role models) wabula beesigame nga ku bya Katonda okubatemera nga ekkubo eggolokofu eri ebiseera byabwe eby’omu maaso.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top