Amawulire

Mukulize abaana mu mpisa eggwanga lisbobole okubeera n’abatuuze abalimu ensa.

Abafumbo bakubiriziddwa okuwaayo obudde eri abaana baabwe babakulize mu kkubo eggolokofu, eggwanga lisobole okubeera n’abatuuze abalimu ensa.

Bino byageddwa Fr. Joseph Sserunjogi bweyabadde asomesa abafumbo abaagattirwa mu lutikko e Lubaga abeegattira mu kibiina kyabwe ekya Tuesday Class Almuni Association.

Omusomo gwabadde ku woteeri ya Pope Paul esangibwa mu Ndeeba mu Munisipaali y’e Lubaga.

Sserunjogi yagambye nti abazadde balina omulimu gw’okulambika abaana baabwe nga bakyali bato, nga babayigiriza okukola ennyo, empisa, eddiini n’okutya Katonda eggwanga lisobole okuwona ebikolobero ng’ettemu, obuli bw’enguzi, obuseegu n’ebirala.

Bernard Bahati Ssentebe w’ekibiina ekigatta Abafumbo abaagattirwa ku lutikko e Lubaga ekya Tuesday Class Alumni Association (akutte omuzindaalo) n’olukiiko lwe nga ayogerako eri Abantu.

Abazadde yabasabye okulondoola abaana baabwe bye balaba ku ttivvi ne ku mitimbagano, kubanga bayigiddeko emize mingi ne bafuuka emisege.

Okutting’ana n’amasasi ebikyase ennyo ennaku zino, Sserunjogi yagambe nti kiva ku baana okukula nga balaba ffirimu ezirimu effujjo n’okutting’ana.

Abaana abalala balaba vidiyo n’ebifaananyi eby’obuseegu ekibaleetedde okwenyigira mu bikolwa eby’obukaba nga bakyali baana bato, mwe bafunidde endwadde n’ebizibu ng’okufuna embuto ze bateetegekedde.

Yavumiridde abazadde abakozesa emibiri gy’abaana baabwe abawala nga bavubuka okufunamu ssente n’ebirabo. Bano yabalabudde nti abaana babasindika mu kubeera bamalaaya gye bujja.

Fr. Sserunjogi yasabye abazadde okukangavvula abaana nga bakyali bato, bave mu biboozi ebibagambibwa nti abaana tebalina kukangavvulwa, n’agamba nti abaleeta ebiboozi ebyo ate era be baaleeta enjogera egamba nti “Suula omuggo oyonoone omwana”.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top