Amawulire

Mukulu wa Bobi agatiddwa nemukyalawe, katikiro abakutidde

Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abafumbo okugumikirizigana basobole okumalako mu bufumbo.Bino bibadde mu bubaka bw’atisse minisita wa Kabineeti, olukiiko, abagenyi n’ensonga ez’enkizo mu woofiisi ya Katikkiro oweek.Noah Kiyimba ku mbaga ya Mw.Fred Nyanzi Ssentamu ne munne Majorine Namukisa mu ekeleziya e Lubaga.
Omukolo gwetabiddwako Omulangira David Kintu Wasajja,Oweek.Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere (Katikkiro eyawummula),Abataka abakulu ab’obusolya, abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo n’abantu abalala bangi.
Abagole bagattiddwa ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemwogerere.

Tubaagaliza obufumbo obutukuvu obujjudde essanyu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top