Pulezidenti Museveni asisinkanye Kyabazinga wa Busoga, William Wilberforce Gabula Nadiope IV nebateesa ku ngeri gyebasobola okuzzaamu ebintu bya Busoga ebyali byatwalibwa gavumenti.
Ensisinkano eno ebadde mu maka g’Obwapulezidenti Entebbe ku Lwokusatu era nebakkanya ku ngeri gyebasobola okulaakulanyamu Busoga.
Kinajjukirwa nti ebintu ku bintu bya Busoga mulimu ebitebe bya Disitulikiti wamu n’eggombolola gavumenti byeyatwala oluvannyuma lw’okuwera obufuzi bw’ ensikirano mu 1966.
Okusinziira ku nzimu ku nsonda ezaabadde mu nsisinkano eno, abakulu bakkiriziganyiza ebintu bikomezebwewo mu mpalo.
Kigambibwa nti Pulezidenti Museveni yasiimye Kyabazinga olw’okulaakulanya Busoga ng’ ayita mu kitongole kya Gabula Foundation ewadde abavubuka abawerako obukugu.
Pulezidenti Museveni yagambye nti singa ebintu bino bikomezebwawo era nebikwatibwa bulungi bisobola okuyambako okukyuusa embeera y’abantu ba Kyabazinga.
Oluvannyuma lw’ensisinkano eno katim Obwakyabazinga butaddewo akakiiko akagenda okulirwa omumyuka Asooka owa Katukiro, Prof Muhammad Lubega,abalala ye Eng. Patrick Batumbya, Saraha Kurata, Alyosius Gonzaga n’omubaka wa Bugabula North John Teira.
Kyo ekiwandiiko ekyafulumiziddwa abakulira ebyamawulire mu maka g’Obwapulezidenti, kiraga nti Pulezidenti yalonze minisita Milly Babirye Babalanda okukwatagana ne Ssaabawolereza Kiryowa Kiwanuka bakole ekiwandiiko ku nsonga eno ekinateesebwako kkabineeti.