Amawulire

Nalonze Mao okusobola okugatta Uganda,Museveni weyategeezezza.

Pulezidenti Yoweri Museveni yategeezezza nti ekimu ku nsonga ezaamulondesezza Ssenkaggale wa Democratic Party (DP), Nobert Mao  kwekugatta Uganda, nga eriwamu era nga ya mirembe.

Bino Museveni yabyogeredde ku mukolo,  Nobert Mao ne Beatrice Akello kwebakubidde ebirayiro okuweereza mu bifo byebalondeddwamu  nga guno  gwayindidde mu  maka g’Obwapulezidenti Entebbe.

Kinajjukirwa nti Mao yalondeddwa okubeera Minisita wa Ssemateeka n’ekitongole ekiramuzi ate Akello nalondebwa okulondoola emirimu gya gavumenti.

“Okulondebwa kwa Beatrice Akello kwaze lwakuba y’omu ku ba RDC abakoze obulungi era yayatiikirira mu disitulikiti gyabadde era y’omu ku bavubuka abato abamaanyi abazze. Ate Mao alina ebisaanyizo byonna eby’omukulembeze. Okulondebwa kwe kwabadde kwakugatta Uganda ebeere mu mirembe,” Museveni bweyategeezezza.

Ono yayogedde ku byafaayo bya Uganda  nalaga nti wabaddewo enteekateeka ez’enjawulo okugatta eggwanga omwali eya Ignatious K. Musaazi naba ‘Uganda National Congress Party’ eyavaamu DP eya Bakatoliki ne UPC eyabakulisitaayo awamu ne Kabaka Yekka.

Museveni yategeezezza nti bino byonna byakolebwa okugezaako okugatta eggwanga abantu beerabire enjawukana naye ku byonna tekuli kyasobola kukola.

Ono yagasseeko nti mu 1979 bwebaali mu Uganda National Liberation Front (UNLF) nga bagoba Idi Amin baddamu okwegatta naye era basattulukuka nemuvaamu NRA n’ebibiina ebirala.

Okusinziira ku Museveni bwebawamba obuyinza nebateekawo emirembe mu 1986 baddamu nebagatta abantu naye ebibiina by’obufuzi bwe byaddamu okukola abantu baddamu okweyawulamu era abamu nebava mu NRM nebagenda mu bibiina ebirala.

Museveni yannyonnyodde nti okufaananako ne Bayibuli bwesomesa, osobola okulekawo endiga 70 nogenda okunoonya endala 30 ezaabula era gwe mulimu gwaliko kati okusobola okugatta Uganda.

“Ndi musanyufu nti abantu nga Beti Kamya, Jimmy Akena ne Mao basobodde okukomawo, nkola ngenderere okwegatta tusobole okukola ku bizibu by’eggwanga,” Museveni bweyakaatirizza.

Abalayiziddwa Museveni yabasabye okukola  ku bizibu by’abantu  kiyambe okuteekawo obwenkanya n’ enkulaakulana.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top