Pulezidenti Yoweri Museveni avuddeyo nafulumya ekiwandiiko nga yeetondera bannakenya olw’ebigambo ebyayogeddwa mutabani we, Gen Muhoozi Kainerugaba ku Mmande ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Twitter.
Kino kiddiridde Muhoozi okutegeeza nga bweyetaaga wiiki 2 zokka okusobola okuwamba ekibuga Nairobi mu Kenya nagigatta ku Uganda.
Pulezidenti Museveni ategeezezza nti Muhoozi yakoze ensobi okukozesa omutimbagano gwe nasaagira mu nsonga enkulu bwezityo.
“ Nsaba baganda baffe bannakenya batusonyiwe ku bubaka abadde omudduumizi w’amagye g’oku ttaka Gen Muhoozi Kainerugaba bweyatadde ku mutimbagano nga bwekuusa ku kulonda okwabadde mu ggwanga lino. Tekigwanidde eri omuntu wabulijjo wadde ab’ebyokwerinda okubyeyingizaamu kuba kikosa enkolagana y’amawanga gombi,” Museveni bw’agambye.
Wadde Museveni yagobye Muhoozi ku kifo ky’omudduumizi w’amagye ag’oku ttaka naye ate yamukuzizza namutuusa ku ddaala lya Genero erisingayo mu ggwanga.
Ku nsonga eno, Museveni agamba nti wadde Muhoozi yakoze ensobi naye ate aliko ebintu ebikulu byakoledde eggwanga nga abadde agwana okukuzibwa.
Pulezidenti Museveni era mu butongole yetonze eri Pulezidenti wa Kenya, William Ruto nakakasa nti bwekuba kugatta mawanga gano emitendera gitambula mu bwesimbu nga bayita mu mukago gwa EAC ne African Union.
Gen Muhoozi kati ye munnamagye asinga ekitiibwa ku myaka emito mu ggye lya UPDF nga ekitiibwa kya Genero yakifunidde ku myaka 48 gyokka .