Pulezidenti Museveni akalambidde ku nsonga z’okuyimbula Dr. Kizza Besigye nategeeza nti ababanja okuyimbula Dr. Besigye bakimanye nti babeera nga abatumbula obutabanguko mu ggwanga kubanga Dr. Besigye yakwatibwa olw’emisango eminene egyekuusa ku by’okwerinda.
Ku by’okusonyiwa Besigye Museveni agamba nti bamala biseera okumusomesa eby’okusonyiwa kubanga ebyo abitegeera bulungi era abitambuliddeko okuva mu myaka gy’enkaaga ‘1960s’.
Ku nsonga y’okujjanjaba Besigye, Museveni agambye nti ono ajjanjabwa bulungi mu ddwaliro lya gavumenti eriri mu kkomera ne mu malwaliro amalala sso nga n’abasawo ba Besigye bakkirizibwa okumulaba. Wano wasabidde Besigye okukomya okwerumya enjala nga anoonya okukwatirwa ekisa era amuwadde amagezi ga kusaba busabi awozesebwe mu bwangu.
Wano wategeerezza nti ensonga z’okuwozesa Besigye zikolwako era akadde konna agenda kusimbibwa mu kkooti z’abantu babulijjo nga kkooti ensukkulumu bweyalagira.
