Amawulire

 Mutebi abadde muntu wabantu nyo.

Omubiri gwa munnamawulire Stuart Mutebi abadde kafulu mu kuweereza emipiira gwatuusiddwa ku kkanisa ya St. Paul ku Lutikko e Namirembe aba Funeral Service abaguyingiza mu kkanisa wakati mu kuyimba ennyimba ezimusiibula.

Abantu ab’enjawulo bazze mu kusaba okuli: eyaliko omubaka wa Busiro South; Pastor Peter Sematimba, bannamawulire abakulembeddwaamu Francis Kyeyune bwe babadde baweereza omupiira, abazanyi ba firimu abakulembeddwaamu Ashraf Semwogerere abakungu okufa mu FUFA nga bakulembeddwaamu omwogezi waabwe Ahmed Hussein.

Okusaba kwakulembeddwaamu Vica wa Lutikko Abraham Luyinda Nsubuga, eyamwogeddeko ng’abadde omusajja atamokkola bigambo ku mpewo, nga bannamawulire bandibadde bamuyigirako kuba abadde asengeka ebigambo byayogera kuba omupiira gubadde guwulirwa abantu ab’enjawulo.

Maama Jenipher Mutebi yeebazizza Katonda olw’obulamu bw’awadde ne bba kuba abadde amwenyumirizaamu nnyo, nga ye kyabadde amumanyiiko abadde ayagala nnyo omulimu gwe ng’ asobola okuleka emmere n’agenda okukola.

Bbo abaana nga bakulembeddwaamu Edrine Mulima bagambye nti kitaabwe babadde bamwenyumirizaamu nnyo kuba abadde muzadde wa njawulo

Omusumba Peter Sematimba yagambye nti omugenzi Mutebi abadde musajja muyiiya nga yakola ky’amaanyi okututumbula CBS nga yatandika n’ebirango era oluvannyuma n’atandikawo g’okuweereza emipiira .

Sematimba yasabye bannabyamizannyo okujjukiranga ebirungi by’akoze kuba okwogerera emipiira Bannayuganda gye bategeera gaali magenzi ge n’abalala ne bakoppa.

Omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein eyetisse obubaka bwa pulezident wa FUFA, Ying. Magogo yagambye nti tewali muntu abadde awulira omupiira n’atanyumirwa ddoboozi lya Mutebi nga n’abamu bamukoppa. Yabawaddeyo akakadde kamu kabayambeko mu nteekateeka z’omugenzi.

Charles Bwanika Sensuwa abadde akola n’omugenzi yatenderezza emirimu egikoleddwa Mutebi mu kaseera ke babadde bonna ku Star FM ng’ abadde musajja mukozi nnyo era nti okufa kwa mukwano gw’e Kagolo kwe kwamuviirako okusannyalala.

Oluvannyuma omubiri gwe gutwaliddwa mu maka ge e Maganjo mu Ggombolola y’e Nabweru.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top