Amawulire

Mutumbule amakolero banange.

Jewel Taylor, asabye abakulembeze b’amawanga ku lukalu lwa Africa okussa omulaka ku kutumbula eby’Amakolero nti y’engeri yokka Africa gy’eyinza okwekolera ku bizibu byayo.

Taylor ali ku bugenyi kuno era ng’omulamwa omukulu ogwamuleese kwe kukubaganya

ebirowooza ku ngeri Uganda gy’eyinza okukwatagana ne Liberia okwongera okutumbula eby’Amakolero mu mawanga gombi ko ne Africa yonna okutwaliza awamu.

Taylor ng’akulembeddwa Minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi n’Amakolero, David Bahati,yalambudde Kkampuni enkozi y’Eddagala eya Cipla Quality Chemical Industries Limited esangibwa e Luzira mu Munisipaali y’e Nakawa.

Ono yayaniriziddwa akulira kkampuni eno, Ajay Pal eyamulambuzza ekkolero lino n’amulaga ne we bakolera eddagala eriweweeza ku kawuka ka siriimu ekintu

ekyamusanyudde n’asiima Pulezidenti Museveni olw’okutumbula amakolero n’ategeeza nti abakulembeze ba Africa bonna bateekwa okwongera amaanyi mu

kutumbula eby’Amakolero Africa bw’eba yakwekolera ku bizibu byayo.

Minisita Bahati, yategeezezza nti Uganda yatandika dda ku lugendo lw’okuwagira amakolero omuli n’agakola eddagala nga kkampuni ezisoba mu 30 zaatandika dda okukola eddagala omuli eriweweeza mukenenya, ery’omusujja n’eddagala lingi nga

byonna bikolebwa okukendeeza ku nsimbi ezisaasaanyizibwa mu kugula eddagala ebweru ate n’okutonderawo Bannayuganda emirimu.

Bo aba kkampuni ya Cipla Quality Chemical Industries Limited nga bakulembeddwamu agikulira, Ajay Pal, baategeezezza nti balina obusobozi obwetaagisa

okukola eddagala erijjanjaba endwadde ezitali zimu ne basaba Pulezidenti Museveni okwongera okubasakira akatale mu mawanga amalala.

Oluvannyuma Taylor yasimbye omuti ogw’ekijjukizo ku Kkampuni ya Cipla.

 

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top