Muzeeyi Jemba Matte, 68, nga ono akyaase ensanji zino olw’ekitone kyalina mukusoma ebirango by’okubaffu, bweyafunnye kukawenda akayingira ekibuga ebijujulu bye kampala tebyamutalizza.
Jemba yalabiddwako mukibuga Kampala nga aliwamu nekyaana kiwala ensanji zino ekimuwumuza ebirowoozo era banyumirwa bulamu ku Freedom City.
Ono agamba nti newankubadde akuliridde mu myaaka, tekimugaana kubeerako nekyaana kiwala ekito ekigenda okumuyambako okutambuza omusaayi.
Muzeeyi Jemba yayatikirirannyo oluvanyuma lw’ekifananyi ekyakubibwa omwaaka oguwedde, munabyabufuzi Kyagulanyi Ssentamu abasinga gwebamanyi nga Bobi Wine bweyali mubitundu bye Kayunga nga agenze okuziika taata w’omu ku mikwaano ggye eyali afudde.
Mwami Jjemba yeyali mukuziika nga omusomi w’ebirango wabula oluvanyuma lwa Bobi Wine okuteeka ekifananyi kya Jjemba kumutimbagano, abantu bangi bakitambuza nga bakyogeza nengombo egamba nti “Omugezi nga tanaffa”
Mubiseera bye nnaku enkulu waliwo abamugwako mubitundu bye Kayunga eyo mu Kyerima era okukakana nga kkampuni z’amawulire nnyinji zitandise okumunoonya olwonno etutumu nafuna linji.
Ono era yalabikiddeko nemu vidiyo yomuyimbi Gravity Omutujju eyoluyimba lwe olupya.