Mzee Jemba omusomi we ebirango bya abafu musanyufu no obulamu omupya bwalimu kati. Bagamba nti tewevuma nga nsi nga tonafa kati kyekiri mubulamu bwa Godfrey Jemba Matte omutuuze we Mbulakati mumuluka gwe Kyelima m town kanso ye Kitimbwa mu Distulikiti ye Kayunga era nga eno gyazalibwa era eno katonda gweyayanukulide ku myaka gye 68. Ono ekitone kyo okusoma ebirango kubafu kya ekimufude celeb ku mukulu gya sosolo midia okwetolola ensi yona.
Omusasi wa Ssekanolya ayogedeko ne muzeyi Jemba nalaga essanyu olwe ekitone kye okumweyimilira ekimutusiza kulyengede ku myaka 68 gyaliko.
Ssekanolya. obulamu bukutambulira butya enaku zino?
Mzee Jemba. Embeera nungi nyo kubanga obulamu bwange bwa kyuuka okuva abaana bwe banteeka ku mukulu gya amawulire sebo kati nange nafuka celeb.
Ssekanolya. Kirabika ekintu okifunyemu!
Muzeyi Jemba. Owaye katonda kubategerera kati nenyambala yakyuse abaana batademu sente nabanyambaza neleero omukyaala wange naye bamwambazizza olwo ffena netuneka.
Ssekanolya. Twawulide nti kata omukyaala akunobeko olwe ebyana kati ebikusalako nga ogeeze kumasaagi?
Mze. Ebyo bigambo kuba naye kati obulamu bwa celeb yabuyingide wenjogera tuva naye kumwambaza bamugulide engoye za mitwaalo 60 ezomulembe ate obugya anabujawa ate kati fena tuli mukintu.
Ssekanolya. Kino tekikulese malala muzeyi Jemba?
Mze Jemba. Tekisoboka atenga lwaki okubera celeb tekirina kyekinkyusa era nsigala nze Jemba asoma ebirango ku bantu.
Ssekanolya. Tubulire obulamu obupya obwotimbagano bukutwaala butya?
Mze Jemba . Abaana banvuga speed buli sawa bifananyi naye ngenda mbimanyirila
Ssekanolya. Otandika otya okusoma ebirango?
Mzee Jemba. Abantu bwe nafiirwa waberawo waberawo ebirango abasomesa era nga bwe bwotuuka ku mufu nga nasaba mbisome awo wenatandikira abantu nebatandika okumpita mbibasomere.
Ssekanolya. Kino okikolede banga ki ekyo kusoma ebirango?
Mzee Jemba. Ebanga liweze nga bakola omulimu guno wabula emyaka gino ebiri mwe koledde enyo olwo omuggalo ogwaleka nga obutale mwenali nkola bugaddwa.
Ssekanolya. Mufuki eyawumula celeb.
Muzeyi Jemba. Omufu era nfuula celeb lwali Lumbe lwo omugenzi Ssalonga Fredrick Katelega olwaliko plesidenti wa Nup Bob wine nange nalabirawo nga mbunye kumutimbagano.
Ssekanolya Kino kyakuyisa kitya?
Mze Jemba. Mukusooka kyampisa bubi baana okunkuba mu katuuni , okunyambaza sikati naye kati nabimanyirila kubanga tebirina kyebinzigyako
Ssekanolya. Kino tukiyite nti kitone oba magezi go?
Mzee Jemba nze Sasoma nyo era nakoma mu senior ya kuna wabula kino okutwaala ga ekitone ekyo kusoma ebirango kubanga mubitabo temulimu kusoma birango nandibadde bakola mulimu gwa office.
Ssekanolya. Mirimo ki emilala gyokola nga tosomye birango ku bantu.
Muzeyi Jemba . Ndimulimi ate era bakola mubutale bwo omubuulo nga ssentebe omulimu gwe enkolede emyaka newankubadde ebirango bye confuse celeb.
Ssekanolya. Abantu kati bakutalaga batya mukitundu?
Mzee Jemba. Abantu balowooza nafunye naye ate sente nange nkyazetaga era nawe bwoberayo nekyo onsulayo nyeyanza.
Ssekanolya. obuzibu kati obusangawa?
Muzeyi Jemba . nebazza abantademu sente nebagulira ebintu ebye enjawulo naye yetaga okufuna pikipiki kubanga akagaali kankooya okutuuka gye endaga.
Ssekanolya. Lwaki si motoka?
Mzee Jemba. Nakamotoka bwe kaba kazze nkaniriza
Ssekanolya. Olina kyewenyumiriza mukusoma ebirango kubafu oba lye wejusa.
Mze Jemba. Sirina kyenejusa kubanga kino okukola kye yagalire nga sisubirayo musaala wade sirina kye ndaga nti nfunyemu naye nfunyemu ettutumu kati nafuse celeb bulyomu amanyi.
Ssekanolya. olinayo ekilala kyogamba?
Mze Jemba. Bulimuntu asobola okumpa kyalina akimpe kubanga nkyetagira ddala.