Ebyengigiriza

Nambooze aganye okuwagira gavumenti okubuusa abaana ebibiina

Nambooze aganye okuwagira gavumenti okubuusa abaana ebibiina

Omubaka wa municipaali y’eMukono Betty Nambooze Bakireke ategeezezza nga bwatawagira  ekiragiro kya gavumenti kye yalagide abasomesa  okubuusa abaana ebibiina nti abasomesa bawe basobole okugezesa  abaana abayizi balabe ebasobola okuyita okusinga okutwaala omuyeye gwabaana

Ono okwogera abadde akulembedemu abakulembeze  mumunicipaali y’eMukono okutambula embeera ya amasomero mukitundu kino gyegalimu oluvanyuma lwa gavumenti  okujawo amasomero kumugalo nelagira abaana bonna okuddamuokusoma oluvanyuma lwo omuggalo gwa Covid19  ogwaleka amasomero  mu ggwanga  nga magale okumala emyaka 2.

Bano baalambudde amasomero ag’enjawulo awatali kutaliza wakati w’ago bwannanyini n’ago aga gavumenti aga Pulayimale ne siniya era ng’eno baasanze ba nanyini masomero gano n’abasomesa bali mu kwetegeka okuddamu okukakkalabye egy’okubangula abaana b’eggwanga omuli okukola ebipande kw’ebanaasomera,okusaawa n’okulima omuddo ogubadde gwamera mu bibiina n’emirimu emirala egy’enjawulo.

Bano baasookedde ku ssomero lya Luiza Nursery and Primary school era ng’eno ekitundu ku luggya lw’essomero kyasingaaniddwa nga kyasimbibwaamu enva endiirwa n’omuddo ogw’eddagala egganda kyokka abasomesa ne basuubiza omubaka nga bwe bagenda okubisaawa olwo abaana bafune ekifo ekigazi we banaasobola okuzannyira.

Omu ku basomesa Fred Katamba, yalaze okusomoozebwa kwe basingaanye nga bbo ab’amasomero g’obwa nnayini, abamu ku bbo abaasazeewo okwewola obuwanana bw’ensimbi okuddaabiriza ebizimbe by’amasomero gaabwe.

Gavumenti yatutaddeko akakwakkulizo ak’obutabinika bazadde nsimbi kubanga eriyo abamu ku bbo abaali baasasula ensimbi zaabwe ne ziggwaayo mu kiseera amasomero lwe gassibwa ku muggalo naye amazima ezo ssente twaazikoseza ne ziggwaawo.Ffe tugenda kugoberera ebitabo byaffe okumanya abaali baasasula n’abaali bataasasula fiizi kwe tunaasinziirira okubasasuza.”Katamba bwe yagambye.

Abakulembeze oluvanyuma beeyongeddeyo ku ssomero lya gavumenti erya Ngandu RC Compulsory School eliri mu mbeera embi ennyo era ng’eno kyababuuseeko okusanga ng’ ebimu ku bizimbe by’essomero lino byaagwa,ebimu nga bigudde olubege,kyokka nga n’ekimu ku bibiina kyafuuka kungaanyizo abatuuze mwe bayiwa kasasiro.

Ku ssomero lino tewaasinganiddwaayo musomesa yenna yadde akabonero akalaga nti abaana banaatandika okusoma ku mande ekintu ekintu ekyakubye abakulembeze enchukwe era ne basuubiza okulondoola alivunaanyizibwaako.

Essomero eddala ly’erya Nabbaale Church of Uganda ewasingaaddwa ng’ ezimu ku nzigi ez’ebibiina n’entebe byabbibwa era nga bano oluvanyuma beeyongeddeyo ku masomero amalala agaaweredde ddala 8 kyokka ng’embeera gye galimu yeeraliikiriza.

Oluvanyuma lw’okulambula,omubaka betty Nambooze yanenyezza nnyo gavumenti olw’okufa ku masomero gaayo gokka bwe gaaweereddwa emitwalo 45 okugaddaabiriza,olwo ag’obwannanyini ne gasuulibwa emuguluka kyokka nga gonna gabadde ku muggalo n’asaba wabeewo ekikolebwa.

Ono era yakaanyizza n’endowooza y’abamu ku basomesa abaategeezezza nga bwe batagenda kubuusa baana bibiina nga bano baakubawa ebibuuzo era ng’abo bokka abanaabiyita be bagenda okweyogerayo mu bibiina ebinaddako.

Meeya Erisa Musaka Nkooyoyo,yategeezezza ng’omwaka guno bwe batadde essira ku kuddaabiriza amasomero ga gavumenti agali mu munisipaali era nti amangu ddala nga baweeredwa ensimbi,bakutandikira ku ssomero ly’engandu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top