ebyamasanyu

Namwandu wa Muzata embaga y’eyengedde

Bba wa Kluthum Nabunya akomyewo n’entwala y’ebintu by’emikolo by’aguze e South Africa ekyongedde ebbugumu mu mukolo gwabwe ogw’okwanjula.Okwanjula kwa kubaawo November 25 e Kyanja mu disitulikiti y’eWakiso.Acram Gumisiriza yavudde e South Africa gy’abeera n’agamba nti kati buli kimu kiri mu ggiya ,balinde mukolo kwe bajja okukakasiza kiki ky’ali.

Acram eyatuuse ku kisaawe e Ntebe ku Ssande ekiro, yazze n’amakeesi ag’emigugu omuli matiiriyo z’emishanana ezimu ezigenda okutungibwamu emishanana egigenda okwambalwa bonna abagenda okubeera ku kwanjula era nga Acram agamba nti engeri gy’ali Munyankole, baasazeewo bonna bambale byabuwangwa bye.

Ebirala bye yazze nabyo mulimu empeta ze yayogeddeko nti  zaakukozesebwa ku mbaga egenda okubaawo mu December w’omwaka guno ng’okwanjula kwakaggwa ebbanga ttono.

Empeta okusinziira ku Acram, yaziguze 27000 eza rand nga mu za Uganda,obukadde mukaaga.

Amasuuti g’embaga yagaguze mu dduka gaggadde erya Menlyn mu kibuga Pretoria mu ssaza ly’e Gauteng.

Engatto agamba nti yaziguze mu Mall of Africa era ng’abawerekera omugole omukyala, baakwambala zifaanana wadde ng’ez’omugole zisinga ku bbeeyi.

Leero,Acram ne Dr.Kluthum Nabunnya bagenda kusisinkana abantu bonna abagenda okukola ku mikolo gyombi okukola enteekateeka ezisembayo.

Bagenda kuyisaamu bwe birina okutambula nga Acram agamba nti tayagala nsobi yonna ku mukolo olw’abantu abaayogera ebingi nga baakamulaba ne Kluthum mu mukwano.

Kaabadde keetalo ku kisaawe nga Kluthum alinze bba eyatuuse n’amuwa akafuba n’okumukwasa ekimuli.Ab’enganda za Kluthum nabo baabuuzizza Acram nga bakulembeddwa ssenga ow’ensonga,Hajat Aisha Lubega Nabunya.

Baatudde mu mmotoka embikkule ne bagenda mu kifo ekitaategeerekese nga bagamba nti mulimu ebyokwerinda kwabwe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top