Nnaabagereka Sylvia Nagginda akuutidde abawangaalira ebweru ku lulimi Oluganda nabasaba baluyigirize abaana babwe basobole okutegeera obuvo bwabwe wamu n’obuwangwa bwabwe.
Bino Nnaabagereka abyogeredde mukibuga Massachusetts e Boston mu Amerika gyeyagenze okubangula abaana mu nteekateeka y’Ekisaakaate eya bannayuganda abawangaalira ebunaayira wansi w’ekitongole ki Nnabagereka Development Foundation.
“Olulimi lukulu nnyo naye lukyasomooza nnyo ne Uganda kuba abaana baffe bangi bakula nga bali ne bazadde babwe, boogera luganda naye nga abaana babwe tebalumanyi naye kino kibakosa bwebakula kuba beesanga nga buli webali balina kukozesa luzungu,” Maama Nnaabagereka bw’agambye.
Ono annyonnyodde nti waliwo okusomooza okulala kuba n’abazadde bennyini naddala ebweru olulimi Oluganda tebalumanyi nabasaba okuyamba abaana babwe okuyiga olulimi lwabwe nga bakozesa ebitabo n’omutimbagano.
Maama Nnaabagereka agamba nti amawanga gonna agaakula gakozesa ennimi enzaaliranwa wadde nga nabo olulimi oluzungu balumanyi nasaba abazadde obutakotogera baana babwe.
Era alaze ng’ enteekateeka y’Ekisaakaate bwewa abaana omukisa okuyiga ebintu ebipya era nekiyamba okuzuula ebitone ebiri mu baana bano era bafuna obukugu obw’enjawulo omuli okufumba, oluka awamu n’okukola emigaati.
Nnaabagereka alaze okutya olw’abaana abamuloopedde abazadde ababazza emabega kuba kumpi abaana babakolera buli kimu ekibazza emabega kwebyo byebabeera bayize.
Okusinziira ku Nnaabagereka bakwatagana n’ekitongole ky’ensi yonna ekya UNDP okusobola okutumbula obuntubulamu mu bantu okusobola okuteekawo emirembe n’ enkulaakulana mu nsi.
Nnaabagereka abakuutidde okubeera eky’okulabirako ekirungi eri abaana babwe n’enganda zabwe bweba baagala okugenda mu maaso bakulaakulane.
Yeebazizza abategesi abakuliddwa Paasita Ssuuna olw’okukunga abantu bonna nga tasosodde mu mawanga wadde eddiini nakakasa nti y’engeri yokka esobola okubatwala mu maaso.
Nnaabagereka Nagginda era aliko ebintu eby’enjawulo byalambudde mu kitundu kino, ku lugendo luno yawerekeddwako Omumbejja Katalina Ssangalyambogo.