Nnaabagereka Sylvia Nagginda asisinkanye omubaka w’ Amerika mu Uganda, Natalie Brown nebabaako ensonga enkulu zebateesaako.
Ensisinkano eno yabadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu nga yabadde yakyama.
Okusinziira ku Muky. Susan Busuulwa Lubega abakulu bano bayogedde ku nsonga eziyamba abaana, abakyala, abavubuka n’emirimu gy’Ekisaakaate.
Ono yategeezezza nti Nnaabagereka ayanjulidde Omubaka Natalie ekittavvu ekiggya kye yatandiseewo ekya Nnabagereka Nagginda Women’s Fund, mwagenda okuyita okukungaanya obuyambi obw’okutaasa abaana, abakyala n’abavubuka, ku nsonga z’ebyenjigiriza, eby’obulamu, n’eby’enkulaakulana.
Muky. Busuulwa yategeezezza nti enteekateeka bwe zinaaba ziwedde, ekitebe ky’Amerika mu Uganda kya kukwasizaako Nnaabagereka okuggusa obuvunaanyizibwa buno.
Ono yannyonnyodde nti balina ekigendererwa eky’okukyusa endaba y’ebintu oluvannyuma lwa Ssennyiga Corona eyagootaanya eby’ebyenfuna mu ggwanga lyonna.
Ensisinkano yeetabiddwamu Ssaabawolereza wa Buganda era Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Christopher Bwanika.