Amawulire

Nze ssejjussa bye nayogera bwemba nayogera bubi bankwate.

Eyaliko minista w’ebyokwerinda mu gwanga Gen Elly Tumwine avuddeyo n’atabukira abo abamukaka okumenyawo ebigambo bye yayogera bwe yali awayo obuyinza eri minista Jim Muhwezi eyamudidde mu bigere nga minista ow’ebyokwwrinda.

Tumwine yategeeza nti,”nga pulezidenti Museveni bwe yannonze okubeera omuwi w’amagezi, ng’enda kufuba okulaba nga muwa amagezi okusobola  okuwayo obuyinza mu mirembe awatali kuyiwa musaayi kuba ekyatutwala munsiko kwali kuleeta mirembe mu Uganda sso ssi kulemerawo. Bannayuganda bwe babeera bamaze ebbanga nga batulonda kubukulembeze, ne batuuka ekiseera nga batukooye, lwaki ate tubeera  tubesibako, ddala ekyo kye kyatutwala munsiko!!
 Abantu abamu omuli abalwana mu lutalo olwaleeta gavumenti eno n’abali mu gavumenti bagamba nti ebyo nabyogeza busungu kubanga pulezidenti Museveni yali ansudde kubwa minista, Nze bye nayogera nabyogera era ssirina kye nnejjusa kubigambo byange, abo bonna abannumba baddembe okwogera bbo bye Bagala naye nze ebyange byange era binva kumutima.
 Gyebuvuddeko minista wensinga z’omunda mu gwanga era eyazirwanako Gen.Kahinda Otafire yalabudde mulwanyi munne Gen Tumwine okugenda empola n’ebigambo kuba ekiseera kye okwogera ebigambo bino kyaggwako dda ng’akyaali minista.
Ensi uganda y’aba nnayuganda bonna sso ssi balondemu, kale kino kyekiseera kye tulina okulwana okulaba nga bannayuganda tebayisibwa bubi mubuli mbeera yonna. Abantu bangi bambuuza kubya pulezidenti Museveni okuleeta Mutabani we Muhoozi nga pulezidenti, nze ekyo sikiriziganya nakyo, muhoozi bwaba ayagala obukulembeze bwe gwanga Alina okumatiza bannayuganda ne bamulonda nga ssemateeka bwagamba sso ssi pulezidenti kulagira, era ekyo nja kukimugamba, kuba kiyinza okufuuka ekyensikirano ng’obwakabaka bwa buganda bwe buli.
Tumwine bwe yabuziddwa ku ki kyagenda okutandikirako yategezezza nti,” pulezidenti bwe nnamusanga ng’omuwi w’amagezi, nnina okutuusa ebirowoozo byange gyali awatali kubako Muntu yenna gwentya yadde balwanyi bannange.
Yagambye nti,”nze sigenda kukirizza kutisibwatisibwa, kuba njajuba ntukiriza omulimu gwe eri eyannonda okumuwabula n’okumuwa amagezi, ssiriiwo kusanyusa basirikale bannange oba bannayuganda, wabula okulaba ng’antukiriza kyenina okukola  bwatyo Gen.Tumwine bwe yategezezza aba SSEKANOLYA ku ssimu.
Nze Kati ndi mumirimu gyange omuli okuyimba n’okusiiga ebifanabyi, era kividi waggweera nz’omu kubagenda okutongoza ezimu kunnyimba zange empya omuli ne “kino kye kiseera kye tulina okulwana, Uganda yamirembe n’ennyimba endala, bwatyo bwe yayongeddeko.
Gen. Tumwine y’omu kubasirikale banna nsiko pulezidenti Museveni be yalwana n’abo mulutalo olwaleeta gavumenti ya NRA, oluvannyuma eyafuuka NRM. Musajja atatera kusagasaga era alenera ennyo kunsonga gyabeera ayogedde, era tatera kumenyawo bigambo bye. Mu kampeyini eziwedde, Gen.Tumwine bwe yali  nga ye minista w’ebyokwerinda mu kiseera abantu we bekalakasiza nga bakutte pulezidenti w’ekibiina Kya National Unity  Platform Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) mu Busoga ng’anoonya akalulu yalagira abasilikale ba poliisi okukuba buli muntu amasasi agezako okwekalakasa, ekintu ekyatabula ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obunti. Ono bwe yabuziddwa oba yejjusa kubigambo bye bino ebyatabula ennyo eggwanga yategezezza nti,” nze sisobola kumenyawo ebigambo byange kubanga ssabyogerera ku mwenge, nze bwe n’afiirwa eriiso lyange nga tuli mulutalo olwaleeta emirembe, abo Abalwanirira emirembe bakolawoki nze okufuna obwenkanya nga Kati bwe bogera.
Mubasilikale abali munsiko pulezidenti Museveni basinga okutya era abamugumyanga buli lwe yali aweddemu essuubi mwe muli ne Gen.Tumwine, era Ono yalinga mundummenye gyali, wabula bwe yabadde akola ekyuukakyuuka mu kabineti empya teyamuwadde kafo konna mu kabineti ye empya, era abasinga kwe basinziira okugamba nti oba ayogeza busungu.
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top