Amawulire

Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka eri abaddu ba Allah.

Tukulisa abaddu ba Allah mwenna okutuuka n’okukuza olunaku olukulu ennyo mu nzikiriza y’abayisiraamu olwa Eid Adhuha.

Tusabira ne bannaffe bonna abalamaze olugendo olutukuvu olw’e Mecca ne Madina, okutuukiriza empagi ey’okutaano mu kukkiriza, okwegayirira kwabwe kwanukulwe.

Ebikolwa bino byombi bituyigiriza okubeera abeetowaaze n’obukkiriza nti, buli kimu kisoboka mu maaso ga Allah.

N’olwekyo tumwegayirirenga buli budde atugondeze n’ebyo bye tulaba ng’ebitasoboka nga bwegwali ku mukkiriza Ibrahim.

Abatuuse ku lunaku luno mulina okujjukira nti, Allah akikoze bwatyo kubanga alina ekigendererwa. N’olwekyo tumwebazenga bulijjo olw’ebyo byatuwa n’ebbanga lyatutegekera okumala ku nsi.

Tusaba, mu kiseera kino tubeereko n’essaala ey’enjawulo nga tusabira abantu baffe abatufaako mu ngeri etategeerekeka ate ne watabeerawo awondera.

Abantu baffe bangi baggwamu essuubi olw’ebintu ebibatuukako ne babulwako obuddukiro. Tusabire n’emyoyo gy’abaana baffe  abattibwa ku ssomero lya Lhubiriha e Kasese,tusabire n’abazadde b’abaana abo olw’ennaku n’ensisi gye balimu.

Waliwo n’obulumi obuli mu bantu baffe nga buli mu birowoozo olw’okusoberwa n’embeera ez’enjawulo endala ezireeta ennyiike mu myoyo.

Allah abawe bye musabye ku Eid Adhuha y’omwaka guno.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top