Amawulire

Obujjanjabi obusookerwako ng’omwana afunye kasikonda.

Abaana abawere batawaanyizibwa nnyo kasikonda ekireetera abazadde okweraliikirira.

Kasikonda alemesa omwana okwebaka , amuleetera obukoowu n’okumumalako  emirembe , ekiteeka abazadde mu kutya n’okweraliikirira.

Omukutu oguwandiika ku byobulamu ogwa health Cleveland clinic org gwabuuza Dr. Kylie Liermann omukugu mu kujjajaba abaana ebikwata ku kasikonda mu baana n’engeri ey’amangu gy’osobola okumuvumula.

Dr. Liermann agamba nti kasikonda mu baana ava ku kucankalana kw’ennyama eyawula ekifuba ku lubuto (diaphragm) , n’eva mu kifo w’erina okubeera , ekireetera omuwaatwa omuyita omukka  ng’omuntu assa okuzibikira , ekireetawo okwesika ng’omukka gunoonya  awokuyita.

Kasikonda asobola okuvumulwa ngositula omwana wo n’omuteeka mu kifuba , n’otandika okumukoona mpolampola ku mugongo , ekimuyamba okufulumya omukka oba ggaasi abeera mu lubuto.

Osobola okumuwa ku mazzi matono kuba gayambako mu kulwanyisa ggaasi abeera mu lubuto.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top