Amawulire

Obulwadde bwa Kakooto obwongedde okutta ente e Kyotera.

 

Aboobuyinza n’abatuuze mu disitulikiti y’e Kyotera beeraliikirivu olw’obulwadde bwa Kakooto (Anthrax) obwavuddeko n’omuggalo gw’ebisolo (kalantiini) mu disitulikiti obutakkiriza kubitambuza, okuggala bbucca zonna, okuwera amata n’ebirala ebiva mu nte.

Mu kiseera kino ekirwadde kyongedde okwegiriisa ng’ente eziwerako buli lunaku zitondoka. Okusooka, abeebyobulamu baali baasalawo okuziika buli nte efa kyokka kino baalabye kya bbeeyi olw’ente ezeeyongera okufa kwe kusalawo okuzookya.

Aboobuyinza nga bakulembeddwa akulira eby’ebisolo mu disitulikiti y’e Kyotera, Dr. John Lutaaya, buli lunaku bakeera kufuna masimu ng’abantu baloopa ente ezibeera zifudde mu bitundu byabwe.

Yannyonnyodde nti waliwo ente egambibwa nti yabadde efudde bulwadde obwo mu zzooni ya Kasambya mu kibuga Kyotera, abasawo b’ebisolo ne basalawo okujookya.

Ente eno eyabadde efiiridde okumpi n’ennyumba y’omutuuze, baagisibye emiguwa n’ewalulwa okugituusa mu kyererezi we baagiyiiriddeko amafuta n’okugissaako ebipiira ne bagikumako omuliro!

Olw’okuba n’abasawo baggyeemu ebyambalo bye baabaddemu ne babyokya, abamu ku batuuze abaalabye ebigenda mu maaso baayongedde okulaga okutya ku ekirwadde kye baasooka okuyita eky’olusaago, ne basaba gavumenti eyongere ku ddagala erigema ebisolo obutafa era ne basaba bannaabwe okwesonyiwa ennyama.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top