Amawulire

Obulwadde bwa sirimu bweeyongedde e Kyenjojo ne disilikiti eziliranyewo.

akawuka akamukenenya mugwanga keyongedde nnyo mubitundu bye gwanga ebitali bimu gamba nga mu disitulikiti ye Kyenjonjo balaze okutya olw’obutabanguko obwekuusa ku kikula ky’ abantu okweyongera buli lukya mu Kitundu kyabwe ekiviiriddeko okusaasaana kwa sirimu mu bavubuka okweyongera.

Bano bagamba nti abavubuka abamu obulwadde buno babufuna oluvanyuma lw’agasajja ga kagwensonyi agawangaala nakawuka kano okwongera okwekakaatika ku baana abatanetuuka.

Abamu ku basawo ku ddwaliro ekkulu e Kyenjojo bagamba nti abavubuka bangi e Kyenjonjo bakeberebwa nebasangibwa nakawuka ka mukenenya okusingira ddala abakolera mu ma baala ne loogi nga buli sabiiti bafuna abalwadde abapya 3.

Bano bategeezezza nti bano batandikirawo eddagala saako nokubabuudabuuda era nalaga obwetaavu obwokunogera ekizibu kino eddagala ng’embeera tenasajjuka.

Kino kijjidde mukiseera nga disitulikiti eziri muttunduttundu lya Tooro zeezisingamu abantu abawagaala n’akawuka kano.

Ebibalo bya Uganda Aids Commission, biraga nti ekibuga ky’e Fortportal kyesingamu akawuka kano nga kali ku bitundu 18.7 ku buli kikumi, Bunyangabu 8.3 ku buli kikumi, Kitagwenda 5.7 ku buli kikumi, Kamwenge 4.8 ku buli kikumi ne Ntoroko 4.0 ku buli kikumi.

Avunaanyizibwa ku nsonga z’amaka ku Poliisi ya CPS e Kyenjojo, Agnes Okidi agamba nti bafuna emisango egyekuusa kukwekakatika ku baana ab’emyaka emimpi buli lunaku egiwerera ddala 10 songa egy’obutabanguko obyokuusa ku kikula kyabantu giwera abiri (20).

Ono yeebaziza bannakyewa aba ARCOD olw’obuyambi bwebabawa okutwala abaana abasobezwako okufuna obujjanjabi nasaba abantu obutatya kugenda mu kkooti kuwa bujulizi kubanga bwebabula emisango gifa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top