Ekibiina ekigattta abasuubuzi mu Kampala ekya Kacita kivuddeyo ne kiwanjagila KCCA ekwatagane ne securite bagobe abasuubuzi bonna abatundira ku nguudo kubanga baleesewo omujjuzo omungi mu Kampala ekiteeka obulabe mu bantu abakopera mu Kampala.
Bino byogereddwa Thadeus Musoke Nagenda akola nga ssentebe wa KACITA mu lukungaana lwa banna mawulire olubadde kitebe kyabwe ekisangibwa ku Royala Complex mu Kampala okwogera bino kidiridde bbomu 2 ezakubiddwa mu Kampala ku lw’okubiri ku CPS ne kukizibe kya Rajar Chambers omwafiridde abantu 6 .
Musoke agambye nti omujjuzo guyitiridde ku nguudo za Kampala okuli Namirembe Road, Ben Kiwanuka , Burton Street nti kino kilina okukoma abatundira ku nguudo bagobebweko basindikibwe mu butale ekibuga kisobole okuneera namabanga agamala okwewala ebiyinza okuddilira kubanga egwanga likyali ku bunkenke.
Abasuuubuzi bagambye nti newekinaaba kyetagisa kukuba banabwe abatudira ku nguudo kiboko baveewo baja ku kikola kubanga babatadde mu kiseera ekizibu ekiwa omwaganya abatuju abayinza okubekwekamu.
Abasuubuzi bagala ba landiloodi bagule obuuma obukebera buli muntu ayingira e kizimbe mu Kampala era nebawera okuwawabira abakuumi ku bizimbe abatafaayo ku mirimu gyabwe.
Moses Lwegaba musuubuzi agambye nti embeera ya basuubuzi yasanyaladde olwa bbomu kyokka babadde bakyalwana na misolo ate kati bbomu nazo zigusse ate nga zitta ekintu ekibadde ku bunkenke mu kiseera mwebabadde basubira okukolera ku sente kubanga ebbanga erisinga mu myaka ebiri babadde ku mugalo.
Olw’entiisa ya bbomu waliwo abasuubuzi abaleese amadduka gabwe nga magule ku kizimbe kya Kkooki Tower ekiliraanye poliisi ya CPS wano abakulembeze nebawanjagira poliisi eyanguyeeko okunonyereza egulewo enguudo banannyini bizimbe bakomewo ku mirimu kubanga bayinza okufiirwa emaali yabwe kubanga amadduka balese magule.