Amawulire

Obusiki bugaaniddwa ku mbaga ya Kyabazinga.

 

 

Akakiiko akategeka embaga ya Kyabazinga, kayimirizza obusiki abawagizi abeebibiina byobufuzi ebyenjawulo bwe babadde bategese.

Abawagizi ba NRM, NUP, FDC n’ebibiina ebirala babadde bategese obusiki mu bifo

eby’enjawulo okulaga obuwagizi n’omukwano eri Kyabazinga nga babadde baakusula nga babinuka masejjere.

Wabula akakiiko akakulirwa Ying. Patrick Batumbya, kayimirizza obusiki nga bagamba nti embaga terina kubaamu byabufuzi kubanga bonna baana ba Isebantu. Embaga ya Kyabazinga ng’aggattibwa ne Inhebantu, Jovia Mutesi yaakubaawo nga November 18,2023 ku Lutikko e Bugembe.

Bino baabitegeezezza abaabadde ku kitebe ky’Obwakyabazinga e Bugembe, akakiiko bwe kaabadde kagenze okulaba entegeka z’omukolo bwe ziyimiridde n’okumanya ssente ezaakasondebwa.

Wiiki ewedde weyaggweereddeko ng’Abasoga, mikwano gyabwe, ebitongole n’amakampuni nga bakyawaayoebirabo okuli ssente enkalu, ebisolo n’ebintu ebikalu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top