Amawulire

Obwakabaka bwa Buganda busse omukago ne kampuni ya NUCAFE.

Buganda esse omukago ne kampuni ya NUCAFE okusobola okutumbula ekirime ky’emmwaanyi mu nga eyita mu bibiina by’obweggasi okusobola okuyamba abavubuka n’abantu abalima ekirime kino okuva mu bwavu.

Omukolo  guno guyindidde mu Bulange, e Mmengo ku Lwokubiri era  Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule yeyajulidde endagaano eno nga Owek  Haji Amisi Kakomo, y’ataddeko omukono kulwa Buganda ate Joseoh Nkandu n’assaako ku lwa NUCAFE.

Bw’abadde ayogerera ku  mukolo guno, Owek. Mugumbule agambye nti emmwaanyi kintu kikulu nnyo eri abantu ng’abasinga kwe basomedde, nga n’abamu ziba gaggawazza, era ng’alina essuubi mu nkolagana etuukiddwako ejja kwongera okutumbula embeera z’abantu.

Owek. Mugumbule annyonnyodde  nti okuva Obwakabaka lwe bwatandika enteekateeka y’  Emmwaanyi Terimba, ebitongole by’obwegassi ebyali byasasika bitandise okudda olw’emmwanyi okweyongera obungi ekyongedde okunyweza obumu n’enkulaakulana.

Sipiika Mugumbule akakasizza aba NUCAFE nti omukago ogukoleddwa leero gwa lubeerera, kubanga okuva edda n’edda mu Buganda, emikago gyakolebwanga na mmwaanyi, n’asaba abavubuka okwenyigira mu kaweefube w’okulima emmwanyi balwanyise obwavu, n’okutwala enteekateeka eno mu maaso.

Ono asabye buli ludda okutuukiriza obweyamo olw’obulungi bw’ekirime ky’emmwanyi n’enkulaakulana y’abantu ba Kabaka.

Ye Minisita Omubeezi ow’Obulimi n’Obwegassi, Oweek. Haji Amisi Kakomo, akkaatirizza nti enkolagana n’aba NUCAFE ya kulwanyisa bwavu mu bantu awamu n’okutumbula embeera zaabwe.

Ssenkulu wa NUCAFE, Joseph Nkandu, agambye nti baagala omulimi aganyulwe mu mmwaanyi, afunirwe akatale, ate n’okubayambako okwongera omutindo ku kirime eky’emmwaanyi.

Nkandu akubirizza abantu okwongera amaanyi mu kulima emmwanyi kuba buli kimu bakirina omuli, amakolero, akatale, okwongera ebijimusa mu ttaka ate n’okukebera embeera n’obujimu bw’ettaka.

Nkandu era ategeezeza nti bagenda kukozesa obukugu obwa sayansi mu kulima emmwanyi nga mwotadde n’okukuuma Obutondebwensi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top