Obwakabaka bwa Buganda buzzizza buggya enkolagana yabwo ne kkampuni y’ebyempuliziganya eya Airtel/K2 emyaka emirala esatu, ng’evujjirira emikolo emikulu mu Buganda.
Airtel Uganda yatandika okukolagana n’Obwakabaka mu 2014 gye myaka 9 egiyise, n’ekigendererwa eky’okusitula embeera z’abantu mu biti eby’enjawulo.
Ku mukolo gw’okuzza obuggya enkolagana eno mu Bulange e Mengo, Katikkiro Charles Peter Mayiga yeebazizza aba Airtel olw’enkolagana ennungi ebbanga eriyise, n’abasaba bagaziwemu bongere n’okuvujjirira enteekateeka endala mu Buganda omuli emipiira gy’Ebika., Ekigwo n’ebirala byagambye nti bikwata butereevu ku mitima gy’abantu.
Katikkiro agambye nti enkolagana ya Buganda ne Airtel eyambye mu kutumbula eby’obulamu bw’abantu ba Kabaka, okutumbula eby’emizannyo, okuvumbula ebitone n’okunyweza obwasseruganda mu bantu.
Airtel Uganda evujjirira enteekateeka za Buganda omuli; Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka, Emikolo gy’amazaalibwa ga Kabaka, Okujjukira Amatikkirwa ga Kabaka, Okusiibulula abayisiraamu mu kisiibo, n’omupiira gw’amasaza.
Omumyuka owokubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda Owek Robert Waggwa Nsibirwa agambye nti Airtel tekyali mu ttuluba lya bavujjirizi wabula kati baafuukira ddala “Banywanyi ab’omukago”.
Owek. Waggwa Nsibirwa agambye nti Enkolagana eno evuddemu ebibala ebirabwako omuli okukendeeza ku muwendo gw’abantu abakwatibwa mukenenya nga woosomera bino omuwendo gw’abalina ssiriimu mu Buganda gusse okutuuka ku bitunndu 50 ku kikumi.
Mu mbeera yeemu abakyala abasoba mu 1000 bafunye obujjanjabi bw’ekirwadde Ekikulukuto (Fistula) songa era abantu ebitundu 63 ku buli kikumi bettanidde okwekebeza obulwadde bwa Sickle Cells.
Owek. Nsibirwa ategeezezza nti Buganda ng’ekolagana ne Airtel/K2 baakukozesa omutimbagano okusomesa abantu ba Kabaka ku by’enfuna n’okusiga ensimbi, okutereka n’okwewola nga bakozesa essimu, eby’obulamu, Obulimi n’obulunzi, okutegeera embeera y’obudde byonna nga bakozesa essimu.
Ssentebe wa Bboodi ya Majestic Brands evunaanyizibwa ku bannamikago Omuk. Robert Nsereko agambye nti enkoalagana ya Buganda ne Airtel tebajejjusa kubanga eviddemu emiganyulo gyennyini egyagisuubirwamu.
Ssenkulu wa Majestic Brands Omuk. Remmy Kisaakye y’atadde omukono ku nkolagana eno n’agamba nti baakugitwala mu maaso mu bwesimbu n’obwesigwa.
Ku lwa Airtel Uganda Omw. Ali Balunywa akulira ba kitunzi ba Airtel eranga yakiikiridde ssenkulu yeeyazizza nnyo Ssaabasajja okusiima n’abakkiriza okwenyigira mu kuweereza abantu be.
Omukolo guno gwetabyeko ne ssenkulu wa Buganda Investments and Cultural Undertakings Ltd, BICUL Omuk. Roland Ssebuwuufu n’abakungu abalala okuva mu Buganda ne Airtel/K2.