Okulima n’okulunda mulimu abantu gwe bakola n’ekigendererwa eky’okufunamu si mmere yokka mu maka wabula ne ssente ezisobolera ddala okubayamba okubeer mu bulamu obulungi ate n’okwetuusaako ebintu eby’enjawulo eby’omugaso mu bulamu obabulijjo.
Wabula ensangi zino okulima n’okulunda kugenda kusanga okulunda kugenda kusanga okusoomoozebwa gamba ng’enkyukakyuka ya bbeeyi mu bintu eby’enjawulo ekireka abalimi abamu nga basobeddwa.
Kyokka okusoomoozebwa kuno tekulina kumalamu balimi oba balunzi maanyi,kye balina okukola kwe kusala amagezi okulaba engeri gye bakuyitamu naddala nga bayita mu bibiina by’obwgassi.