Amawulire

Ochola mu awaddeyo wofiisi ya Ssaabapolice wa Uganda eri omumyuka we butongole .

Abadde Ssaabapolice wa Uganda Martin Okoth Ochola mu butongole awaddeyo wofiisi eri abadde omumyuka we Maj Gen Tumusiime Katsigazi,agenda okugikuuma okutuusa okukulembeze w’eggwanga lwanalonda ssabapolice omuggya.

Martin Okoth Ochola aduumidde police y’eggwanga okumala ebbanga lya myaka 6, okuva mu March 2018, yadda mu bigere bya Gen Edward Kale Kayihura.

Omukolo gw’okuwaayo wofiisi gubadde ku kitebe kya Police e Nagguru, gwetabiddwako abakungu okuva mu bitongole ebyenjawulo okubadde owa Crime Intelligence Brig. Christopher Ddamulira, Grace Akullo owa Interpol, Tom Magambo owe kitongole ekinoonyereza ku misango CID, akulira abakozi mu police Chief of Staff Abel Kahinda n’abakulu abalala.
Yebazizza ne minister w’ensonga zomunda mu ggwanga Maj Gen Kahinda Otafiire n’obukulembeze bwa police obwenjawulo okukolera wamu naye ne batwala Police ku ddala eddala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top