Amawulire

Okutandika nga January 1  2024 , Munnayuganda ayingira e Congo si wakusasuzibwa viza’.

Okutandika nga January 1  2024 , Munnayuganda ayingira e Congo n’Abacongo abayingira muno, si bakusasuzibwa viza’ .

Kino kiddiridde eggwanga lya Congo okwegatta ku mukago gwa East African Community era nga kino kyasaliddwawo mu lukiiko olwatudde  okuva nga October 11 okutuuka nga October 15 2023 e Kinshasha.

Omwogezi wa minisitule y’ensonga ez’omunda mu ggwanga, Simon Mundeyi, agambye nti enkola eno yaakwongera okussaawo obwasseruganda mu mawanga gombi.

Mundeyi ayongeddeko nga Bannayuganda abawerako abakomyewo muno (Abasama ) bwe bazze babbibwako ssente ennyingi , ng’abafere babalimba okubaddiza pasipoota zaabwe obuggya.

Agasseeko nti abafere batuula mu bifo omuli Lufula, okumpi n’essundiro ly’amafuta mu kifo ekyo n’abalala bayimirira kumpi ne ggeeti za minisitule.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top