Amawulire

Olukungaana olw’omulundi ogw’e 19 lutandise lutudde mu Uganda.

 

Abakungu   mu mukago gwa Non Alligned Movement -NAM batudde  ku  woteeri ya Speke Reasort e Munyonyo, okwekeneenya   ekiwandiiko ekirimu  ebyasalibwaawo   mu lukungaana lwabwe olwasembayo mu October wa 2019  mu Kibuga Baku  mu  Azabaijan

Olukungaana lwa NAM olw’o mulundi 19  lutandiise  era    abakiise abatebyemu  okuva  Mawanga  omuli  Colombia ,Burkinafaso ,Brunei ,Afaganistan  , Malaysia , Egypt ,Algeria , United Araba Emirates   nabalala.

Batandikidde mu kuddamu  okwetegereza  ebyakanyizibwako mu lutuula lwa NAM  olwasembayo  mu kibuga Baku , ng’o bukiiko okubadde  aka  Political Committee  ne  Economic and Social  committee bwebuteredwawo okwetegereza ensonga .

Ensonga ezitunuuliddwa mulimu ebyenfuna n’enkulakulana z’amawanga , eby’obulamu , obwavu , entalo n’ebizibu ebirala ebisomooza ensi  yonna.

Mu mbeera yemu wakubeerawo okukubaganaya ebirowoozo wakati  waba Minister abavunanyizibwa ku nsonga za mawanga malala.

Mu ntekateeka eno, abakulembeeze b’amawanga  abasoba  mu  40  basuubirwa okwetaba mu lukungaana lwa NAM olwawamu, era basuubirwa okutuuka mu ggwanga esaawa yonna.

Minister  wa Uganda ow’ensonga z’amawanga amalala Gen Abu baker   Jejje Odongo  asinzidde mu lukungaana lwa NAM e Munyonyo,    nagamba a mawanga  mangi  gali mu bizubu nkumu  omuli obwavu  ,  amabanja n’ebirala ebizingamizza enkulakulana.

Gen Odongo awanjagidde amawanga mu mukago gwa NAM okukozesa olukungaana  luno  okugonjoola  ebizibu byago.

Mnister w’amawulire n’okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi ategeezza nti Uganda yakuganyulwa mu nkugaana zino okuli olwamawanga agatalina ludda ku by’obufuzi by’Ensi –NAM n’olwa G77 + China

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top