Uganda yeemu ku mawanga e 16, agakyalemeddemu ekizibu ky’okusaasaana kwa siriimu okuva ku ba maama nebasiiga abaana nga babazaala.
Alipoota ziraga nti ku baana 100 abazaalibwa, abaana 30 bafuna akawuka okuva ku bazadde baabwe, ekiretedde okukonzibya olutalo lwokumalawo mukenenya mu Uganda.
Wabula okusinziira ku ministry y’ebyobulamu, waliwo esuubi nti buli kiseera ekiyitawo omuwendo gugenda gukendeera.
Mu mwaka gwa 2000 ekizibu kino kyali ku bitundu 20 %, 2021 weyatuukira nga kyongedde okukka okutuuka ku bitundu 2.8%.
Alipoota y’ekitongole ekirwanyisa siriimu munsi yonna ekya UNAIDs eraga nti mu nsi yonna abaana abatasukka myaka 14, abawera emitwalo 15 bebalina akawuka ka mukenenya naye nga baakafunira ku bazadde babwe, nga wano mu Uganda basoba mu 6000.
Alipoota eya 2018–2023 Ugandan National Elimination Plan II, eraga nti abaana abalina mukenenya ebitundu 18% baakafuna kuva ku ba nnyabwe nga babazaala.
Sarah Nakku, omukungu mu kitongol kya UNAIDS, agamba nti Uganda yeemu ku mawanga e 16 mu Africa yonna agakyalina abazadde abasiiga abaana akawuka ka mukenenya.
Mu kaweefube omulala ow’okulwanyisa siriimu mu Uganda, abeekebeza batuuse mu bitundu 95%, abali ku ddagala batuuse ku 98%, abamanyi era abalondoola ensaasaana y’akawuka mu mibiri gyabwe batuuse mu bitundu 92%.
Nakku agamba nti abakyala abamu okutya okukosa abaana nga bali mbuto, abamu basalawo okuva ku ddagala lyabwe eriweweeza akawuka ekikaviirako okweyongera amaanyi mu mubiri ekyongera okuteeka mu matigga abaana abali mu mbuto.
District z’omu Buganda zezikyasinzeemu obulwadde naddala mu district ye Wakiso, ng’eno buli mwaka abantu 5,750 bebafuna akawuka, nga buli lunaku 16 bebakwatibwa akawuka mu district eno.
Buikwe, Mukono, Luweero, Mubende ne Kyenjojo bebadirira, sso ng’ebiwandiiko biraga nti obulwadde mu Uganda bukendeddeko nebitundu 4% okuva ku bantu 54,000 okudda ku 52,000 abafuna akawuka buli mwaka.
District okuli Amudat, Kabong ne Nabilatuk zezisingamu abalwadde abatono, sso ng’ebibuga okuli ekye Gulu, Lira, Masaka, Jinja, ne Mbarara byebisinzemu okuba nabalwadde abapya aba siriimu.