Amawulire

OMUBAKA ADDUKIRIDDE AMALWAALIRO 2, AGAWADDE AMBULENSI

Mu kawefube w`okutumbula eby`obulamu mu district ye Pallisa, omubaka wa Agule county Polycarp Ogwari addukiridde amalwaaliro 2 okuli erye Kameke Healthy center III ne Agule Health center III mu kugonza ku mbeera ye by`obulamu naddala abalwadde okutindigga enngendo nga okunoonya obujjanjabi, mu kuwaayo ambulensi zino omubaka we Agule county Polycarp Ogwari yagambye nti abatuuze bakalubilirwa nnyo okugenda mu ddwaaliro e Pallisa kubanga olugendo luwanvu naddala abakyaala abalumwa okuzaala ebiseera ebisinga abamu bazaalira ku makubbo, ate abalala abaana nebabafiira mu mbuto oluusi ne ba maama benyini okufa. Ambulensi yazikwaasiza RDC we Pallisa Majiidu Dhikusooka ono eyasabye abaziweereddwa okuzikozesa emirimu gyennyini gye giteekeddwa okukola.

Amyuuka DHO we Pallisa Okolimong Charles yebazizza omubaka okwelekereza naduukilira abatuuze n`okussa ettaffaali ku by`obulamu. Abatuuze baasabye ababaka abava mu North Bukedi okubayamba ku ddwaaliro lye Pallisa lifuulibwe referral hospital okusinga okugenda e Mbale ate nga omujjuzo mungi, ababaka okuli Richard Oseku owe Kibbaale County ne Kaala Kevin Ojinga omukyaala owa Pallisa basuubizza okukola ekisoboka okutuusa eddoboozi lyaabwe eri minisita we by`obulamu asuumuse eddwaaliro lino mu kiseera kino likola district 5 okuli Namutumba, Kibuku, Butebo, Pallisa ne Budaka

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top