Amawulire

Omubaka Ssegirinya ayongedde okunafuwa.

Ebeera y’omubaka wa Kawempe North, Mohammed Ssegirinya eyongedde okutiisa aba ffamire n’emikwano bw’akwatiddwa kasikonda amumazeeko emirembe.
Segirinya kasikonda yamkutte ku Ssande wabula nga buli lw’asikondoka yeesika omubiri gwinna ekireeseewo obweraliikirivu mu booluganda n’emikwano abamujjanjaba ku kitanda e Nsambya awamu n’abasawo.
Kasikonda yeegasse mu mbeera y’okuluymizibwa mu lubuto eyamutwazizza ku kitanda ku Mmande ya wiiki ewedde nga takyamanyi na biri ku nsi.
Ng’oggyeeko okulumizibwa mu lubuto , Ssegirinya abadde n’ekizibu ky’okussa.
Omu kubabaka banne eyagenze okumulambula eggula yafulumye akasenge ak’enjawulo Ssegirinya mw’ajjanjabirwa ng’omutima gumwennyise olw’embeera embi n’obulumi mubaka munne by’alimu.
Ku Lwomukaaga , Ssegirinya yafulumizza akatambi ng’alaajanira buli omu amusabire nti naye awulira obulamu bugenderera.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top